|
| 1 |
|
| Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga, ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase. |
|
| 2 |
|
| Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi, osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde. |
|
| 3 |
|
| Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi? Omukozi w’ebibi alituusa ddi ng’asanyuka? |
|
| 4 |
|
| Bafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana; abakola ebibi bonna beepankapanka. |
|
| 5 |
|
| Babetenta abantu bo, Ayi Mukama, babonyaabonya ezzadde lyo. |
|
| 6 |
|
| Batta nnamwandu n’omutambuze; ne batemula ataliiko kitaawe. |
|
| 7 |
|
| Ne boogera nti, “Katonda talaba; Katonda wa Yakobo tafaayo.” |
|
| 8 |
|
| Mwerinde mmwe abantu abatategeera. Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi? |
|
| 9 |
|
| Oyo eyatonda okutu tawulira? Oyo eyakola eriiso talaba? |
|
| 10 |
|
| Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze? Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi? |
|
| 11 |
|
| Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu; amanyi nga mukka bukka. |
|
| 12 |
|
| Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula, gw’oyigiriza eby’omu mateeka go; |
|
| 13 |
|
| omuwummuzaako mu kabi kaalimu, okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya. |
|
| 14 |
|
| Kubanga Mukama talireka bantu be; talyabulira zzadde lye. |
|
| 15 |
|
| Aliramula mu butuukirivu, n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga. |
|
| 16 |
|
| Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi? Ani alinnwanirira eri abakola ebibi? |
|
| 17 |
|
| Singa Mukama teyali mubeezi wange, omwoyo gwange gwandiserengese emagombe. |
|
| 18 |
|
| Bwe naleekaana nti, “Nseerera!” Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira. |
|
| 19 |
|
| Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi, okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi. |
|
| 20 |
|
| Oyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu, obukaabya abantu n’amateeka gaabwe? |
|
| 21 |
|
| Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu; atasobezza ne bamusalira ogw’okufa. |
|
| 22 |
|
| Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi; ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka. |
|
| 23 |
|
| Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe, n’abazikiriza olw’ebyonoono byabwe; Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala. |
|
|
|
|