×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 94

1
Ayi Mukama, ggwe Katonda nannyini kuwalana, Ggwe Katonda nannyini kuwalana, omasizemasize ddala.
2
Yimuka, ggwe asalira ensi emisango: Owe ab'amalala ebibagwanira.
3
Mukama, ababi balituusa wa, Ababi balituusa wa okuwangula?
4
Boogera ebitaliimu, n'eby'amalala: Abakozi b'obubi bonna beenyumiriza:
5
Bamenyaamenya abantu bo, Ayi Mukama, Era babonyaabonya obusika bwo.
6
Batta nnamwandu ne munnaggwanga, Era batta n'atalina kitaawe.
7
Ne boogera nti, “Mukama taabiraba, So Katonda wa Yakobo taabirowooza.”
8
Mutegeere, mmwe abali ng'ensolo mu bantu! Nammwe abasirusiru, muligeziwala ddi?
9
Eyateekawo okutu, ye tawulira? Eyabumba eriiso, ye talaba?
10
Abonereza amawanga, talibakangavvula? Ayigiriza abantu amagezi,
11
Mukama amanyi ebirowoozo by'abantu, nti biri nga mukka bukka.
12
Alina omukisa omuntu gw'obonereza, Ayi Mukama, Era gw'oyigiriza ebiva mu mateeka go;
13
Olyoke omuwummuze aleme okulaba ebiro eby'ennaku, Okutuusa ababi lwe balisimirwa obunnya.
14
Kubanga Mukama talisuula bantu be, So talireka busika bwe.
15
Kubanga obwenkanya buliddira abatuukirivu, Ne bonna abalina emitima egy'amazima balibugoberera.
16
Ani anaasituka antaase ku abo abakola obubi? Ani anaayimirira amponye abakozi b'ebitali bya butuukirivu?
17
Singa Mukama teyali mubeezi wange, Emmeeme yange yandibadde yagenda dda mu nsi ey'okusirika.
18
Bwe nnayogera nti Ekigere kyange kiseerera, Okusaasira kwo, ggwe Mukama, ne kumpanirira.
19
Ebirowoozo by'omutima bwe biba nga bingi; Okubudabuda kwo kusanyusa emmeeme yange.
20
Abafuga ababi balissa ekimu naawe, wadde abalagira eby'ettima mu mateeka?
21
Bakuŋŋaana okulumba emmeeme y'omutuukirivu, Ne basalira atalina musango okuttibwa.
22
Naye Mukama yabanga kigo kyange ekiwanvu; Era Katonda wange lye jjinja lye nneeyuna.
23
Era alikomyawo ku bo obutali butuukirivu bwabwe bo, Era alibazikiriza mu bubi bwabwe; Mukama Katonda waffe alibazikiriza.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes