×

Luganda Bible

Zabbuli 95

1
Mujje, tuyimbire Mukama: Tuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ejjinja ery'obulokozi bwaffe.
2
Tujje mu maaso ge n'okwebaza, Tumuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ne zabbuli.
3
Kubanga Mukama ye Katonda omukulu, Era Kabaka omukulu asinga bakatonda bonna.
4
Enkonko z'ensi ziri mu mukono gwe; N'entikko z'ensozi nazo zizze.
5
Ennyanja yiye, era yagikola; N'emikono gye gye gyabumba olukalu.
6
Mujje, tusinze, tuvuuname; Tufukamire mu maaso ga Mukama Omutonzi waffe:
7
Kubanga ye Katonda waffe, Naffe tuli bantu ba ttale lye, era endiga ez'omu mukono gwe. Leero, oba nga munaawulira eddoboozi lye,
8
Temukakanyaza mitima gyammwe, nga e Meriba, Nga ku lunaku olw'e Masa mu ddungu:
9
Bajjajja bammwe bwe bankema, Ne bangeza, ne balaba omulimu gwange.
10
Emyaka amakumi ana nanyiikaalira ab'emirembe giri, Ne njogera nti Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, So tebamanya makubo gange:
11
Kyennava ndayira mu busungu bwange, Nga tebaliyingira mu kiwummulo kyange.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes