Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Mujje tutendereze Mukama, tumuyimbire n'essanyu oyo atukuuma n'atuwonya. |
| 2 |
| Mujje gy'ali tumwebaze, tumuyimbire n'essanyu ennyimba tumutendereze. |
| 3 |
| Mukama ye Katonda, mukulu, ye Mufuzi wa balubaale bonna. |
| 4 |
| Ye afuga enkonko z'ensi eno, n'entikko z'ensozi, zize. |
| 5 |
| Ennyanja yiye kubanga ye yagikola, n'olukalu ye yalwekolera. |
| 6 |
| Mujje tusinze, tumuvuunamire, tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe, |
| 7 |
| kubanga ye Katonda waffe, era ffe bantu b'afaako, ffe ndiga ze z'aliisa. Olwaleero bwe muwulira eddoboozi lye, |
| 8 |
| “Temukakanyaza mitima gyammwe nga bajjajjammwe bwe baakola e Meriba, ku lunaku lwe baali e Massa mu ddungu: |
| 9 |
| bwe bankema ne bangeza, newaakubadde nga bye nkola baali babirabye. |
| 10 |
| Emyaka amakumi ana neetamwa abantu abo, ne ŋŋamba nti: ‘Babambaavu mu mitima, tebagondera biragiro byange.’ |
| 11 |
| Kyennava nsunguwala ne ndayira nti: ‘Siribawa kuwummula n'akatono.’ ” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/095.mp3
150
95