×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 95

1
Mujje, tumuyimbire Mukama: Tumuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ejjinja ery'obulokozi bwaffe.
2
Tujje mu maaso ge n'okwebaza, Tumuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ne zabbuli.
3
Kubanga Mukama ye Katonda omukulu, Era Kabaka omukulu asinga bakatonda bonna.
4
Enkonko z'ensi ziri mu mukono gwe; N'entikko z'ensozi nazo zizze.
5
Ennyanja yiye, era yagikola; N'emikono gye gye gyabumba olukalu.
6
Mujje, tusinze, tuvuuname; Tufukamire mu maaso ga Mukama Omutonzi waffe:
7
Kubanga ye Katonda waffe, Naffe tuli bantu ba ttale lye, era endiga ez'omu mukono gwe. Leero, oba nga munaawulira eddoboozi lye,
8
Temukakanyaza mitima gyammwe, nga e Meriba, Ku lunaku lwe baali e Masa mu ddungu:
9
Bajjajjammwe bwe bankema, ne bangeza; Newakubadde nga bali balabye omulimu gwange.
10
Emyaka ana (40) nanyiikaalira ab'emirembe giri, Ne njogera nti Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, So tebaamanya makubo gange:
11
Kyennava ndayira mu busungu bwange, Nga tebaliyingira mu kiwummulo kyange.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes