×

Luganda Bible

Zabbuli 96

1
Muyimbire Mukama oluyimba oluggya: Mumuyimbire Mukama, mmwe ensi zonna.
2
Mumuyimbire Mukama, mwebaze erinnya lye: Mwolesenga obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku.
3
Mubuulirenga ekitiibwa kye mu mawanga, Eby'amagero bye mu bantu bonna.
4
Kubanga Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo: Agwana okutiibwanga okusinga bakatonda bonna.
5
Kubanga bakatonda bonna ab'amawanga bye bifaananyi: Naye Mukama ye yakola eggulu.
6
Ekitiibwa n'obukulu biri mu maaso ge: Amaanyi n'obulungi biri mu watukuvu we.
7
Mumuwe Mukama, mmwe ebika eby'amawanga, Mumuwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi.
8
Mumuwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye: Muleete ssaddaaka, mujje mu mpya ze.
9
Kale mumusinze Mukama mu bulungi obw'obutukuvu. Mukankane mu maaso ge, mmwe ensi zonna.
10
Mwogerere mu mawanga nti Mukama afuga: Era n'ensi enywera n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana: Alisalira amawanga emisango egy'ensonga.
11
Eggulu lisanyuke, era n'ensi ejaguze; Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo;
12
Ennimiro ejaguze, n'ebigirimu byonna; Emiti gyonna egy'omu kibira ne giryoka giyimba olw'essanyu;
13
Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja; Kubanga ajja okusalira ensi emisango: Alisalira ensi emisango egy'ensonga, Aliramula amawanga n'amazima ge.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes