Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, ab'oku nsi mwenna muyimbire Mukama. |
| 2 |
| Muyimbire Mukama mumutendereze, mwatule buli lunaku bwe yatulokola. |
| 3 |
| Mumanyise ekitiibwa kye mu mawanga, abantu bamanye by'akola ebyamagero. |
| 4 |
| Mukama mukulu era agwanira okutenderezebwa ennyo, ekitiibwa kye kisinga ekya balubaale bonna. |
| 5 |
| Balubaale bonna ab'amawanga amalala, bifaananyi, naye Mukama ye yakola eggulu. |
| 6 |
| Yeetooloddwa ekitiibwa n'obukulu, obuyinza n'obulungi bijjudde mu kifo kye ekitukuvu. |
| 7 |
| Mukama oweekitiibwa n'amaanyi mumutendereze mwenna abali ku nsi. |
| 8 |
| Mumuwe ekitiibwa kye ekimugwanidde, mujje mu mpya ze, muleete ebitambiro. |
| 9 |
| Musinze Mukama, nga musaanidde, mu kifo kye ekitukuvu, ab'oku nsi mukankane mu maaso ge. |
| 10 |
| Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama ye Kabaka. Ensi yaginyweza nnyo, teyinza kusagaasagana. Abantu alibalamuza bwenkanya. |
| 11 |
| Eggulu ka lyesiime era n'ensi k'ejaganye, ennyanja ewuume n'ebigirimu byonna. |
| 12 |
| Ennimiro k'ejaguze n'ebigirimu byonna. Emiti era n'ebibira olw'essanyu bireekaane |
| 13 |
| mu maaso ga Mukama, kubanga ajja. Ajja okusalira ensi emisango Aligisala mu bwesimbu abantu abalamuze mazima. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/096.mp3
150
96