×

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

Zabbuli 96

1
Muyimbire Mukama oluyimba oluggya; muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
2
Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye, mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
3
Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna, eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.
4
Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa; asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
5
Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi; naye Mukama ye yakola eggulu.
6
Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola; amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.
7
Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna; mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
8
Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
9
Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe. Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.
10
Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga. Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako; Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.
11
Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze; ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.
12
Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze; n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.
13
Kubanga Mukama ajja; ajja okusalira ensi omusango. Mukama aliramula ensi mu butuukirivu, n’abantu bonna abalamule mu mazima.
Luganda Bible EEEE
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® worldwide.
:
Save Notes