×

Luganda Bible

Zabbuli 97

1
Mukama afuga; ensi esanyuke: Ebizinga bijaguze bwe byenkana obungi.
2
Ebire n'ekizikiza bimwetooloola: Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe ye.
3
Omuliro gumukulembera, Gwokya abalabe be eruuyi n’eruuyi.
4
Enjota ze zaamulisa ensi: Ensi n'eraba n'ekankana.
5
Ensozi z'asaanuuka ng'envumbo awali Mukama, Awali Mukama w'ensi zonna.
6
Eggulu libuulira obutuukirivu bwe, N'amawanga gonna galabye ekitiibwa kye.
7
Bakwatibwe ensonyi bonna abasinza ebifaananyi ebyole, Abeenyumiriza olw'ebifaananyi: Mumusinze ye, mmwe bakatonda mwenna.
8
Sayuuni yawulira n'asanyuka, N'abawala ba Yuda ne bajaguza; Olw'emisango gyo, ai Mukama.
9
Kubanga ggwe, Mukama, oli waggulu nnyo ku nsi zonna: Ogulumizibwa okusinga ennyo bakatonda bonna.
10
Kale mmwe abaagala Mukama, mukyawe obubi: Akuuma emmeeme z'abatukuvu be; Abawonya mu mukono gw'omubi.
11
Omusana gwasigirwa omutuukirivu, N'essanyu oyo alina omutima ogw'amazima.
12
Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu Era mwebaze erinnya lye ettukuvu.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes