Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ensi esanyuke kubanga Katonda ye Kabaka, n'ebizinga byonna bijaguze. |
| 2 |
| Ebire n'ekizikiza bimwetoolodde, afugira ku bwesimbu na bwenkanya. |
| 3 |
| Omuliro gumukulemberamu, ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna. |
| 4 |
| Ebimyanso bye byamulisa ensi, ensi n'ebiraba n'ekankana. |
| 5 |
| Ensozi zisaanuuka ng'envumbo awali Mukama, awali Mukama w'ensi zonna. |
| 6 |
| Eggulu liraga nti mutuukirivu, abantu bonna balaba ekitiibwa kye. |
| 7 |
| Bonna abasinza ebifaananyi ebyole n'abenyumiriza olw'ebyo ebitali Katonda, baswale. Balubaale bonna bavuunamira Mukama. |
| 8 |
| Ayi Katonda, ab'omu Siyooni basanyuka, n'ab'omu bibuga bya Yuda bajaguza olw'okuwulira emisango gy'osala. |
| 9 |
| Ayi Mukama, ggwe Atenkanika mu nsi zonna, ogulumizibwa okusinga balubaale bonna. |
| 10 |
| Mmwe abagala Mukama, mukyawe ebibi, Mukama akuuma obulamu bw'abantu be abalungi, abawonya obuyinza bw'ababi. |
| 11 |
| Ekitangaala kyakira abakola ebituufu n'essanyu liba n'ab'omutima omulongoofu. |
| 12 |
| Mwenna abeesimbu musanyuke olw'ebyo Mukama by'akola. Mwebaze erinnya lye ettukuvu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/097.mp3
150
97