Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Mukama afuga; ensi esanyuke, n’embalama eziri ewala zijaguze. |
| 2 |
| Ebire n’ekizikiza bimwetooloola; obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe. |
| 3 |
| Omuliro gumukulembera ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna. |
| 4 |
| Okumyansa kwe kumulisa ensi; ensi n’ekulaba n’ekankana. |
| 5 |
| Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama, mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna. |
| 6 |
| Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe; n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye. |
| 7 |
| Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde, abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole. Mumusinze mwe mwenna bakatonda. |
| 8 |
| Sayuuni akiwulira n’asanyuka, n’ebyalo bya Yuda bijaguza; kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda. |
| 9 |
| Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi; ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna. |
| 10 |
| Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi, akuuma obulamu bw’abamwesiga, n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi. |
| 11 |
| Omusana gwe gwakira abatuukirivu, n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu. |
| 12 |
| Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu, era mwebazenga erinnya lye ettukuvu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/097.mp3
150
97