EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Mukama afuga; ensi esanyuke; N'ebizinga byonna bijaguze. |
| 2 |
| Ebire n'ekizikiza bimwetooloola: Obutuukirivu n'obwenkanya bye binyweza entebe ye. |
| 3 |
| Omuliro gumukulembera, Gwokya abalabe be eruuyi n'eruuyi. |
| 4 |
| Ebimyanso bye byamulisa ensi: Ensi n'ebiraba n'ekankana. |
| 5 |
| Ensozi z'asaanuuka ng'envumbo awali Mukama, Awali Mukama w'ensi zonna. |
| 6 |
| Eggulu libuulira obutuukirivu bwe, N'amawanga gonna galabye ekitiibwa kye. |
| 7 |
| Bakwatibwe ensonyi bonna abasinza ebifaananyi ebyole, Abeenyumiriza olw'ebifaananyi: Mumusinze ye, mmwe bakatonda mwenna. |
| 8 |
| Sayuuni yawulira n'asanyuka, N'abawala ba Yuda ne bajaguza; Olw'emisango gyo, Ayi Mukama. |
| 9 |
| Kubanga ggwe, Mukama, oli waggulu nnyo ku nsi zonna: Ogulumizibwa okusinga ennyo bakatonda bonna. |
| 10 |
| Kale mmwe abaagala Mukama, mukyawe obubi: Akuuma emmeeme z'abatukuvu be; Abawonya mu mukono gw'omubi. |
| 11 |
| Omusana gwakira omutuukirivu, N'essanyu eri oyo alina omutima ogw'amazima. |
| 12 |
| Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu Era mwebaze erinnya lye ettukuvu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/097.mp3
150
97