Luganda Bible
|
| 1 |
| Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya; Kubanga akoze eby'amagero: Engalo ze eza ddyo, n'omukono gwe omutukuvu bimuleetedde obulokozi. |
| 2 |
| Mukama amanyisizza obulokozi bwe: Obutuukirivu bwe abwolekerezza ddala mu maaso g'amawanga. |
| 3 |
| Ajjukidde okusaasira kwe n'obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isiraeri: Enkomerero zonna ez'ensi zirabye obulokozi bwa Katonda waffe. |
| 4 |
| Muyimbe n'eddoboozi ery'essanyu eri Mukama, mmwe ensi zonna: Muleete oluyimba muyimbe olw'essanyu, weewaawo, muyimbe eby'okutendereza. |
| 5 |
| Muyimbe okutendereza Mukama n'ennanga; N'ennanga era n'eddoboozi eriyimba. |
| 6 |
| N'amakondeere n'eddoboozi ery'akagombe Muleete eddoboozi ery'essanyu mu maaso ga Kabaka, Mukama. |
| 7 |
| Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo; Ensi zonna, n'abo abazituulamu; |
| 8 |
| Amazzi gakube mu ngalo; Ensozi ziyimbire wamu olw'essanyu; |
| 9 |
| Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okusalira ensi omusango: Alisalira ensi emisango egy'ensonga, Aliramula amawanga n'obutuukirivu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/098.mp3
150
98