×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 98

1
Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, kubanga akoze ebyamagero. Obuyinza bwe obutukuvu n'amaanyi ge, biwangudde.
2
Mukama alaze nga ye muwanguzi, amawanga agalaze bw'alokola. Ajjukidde okulaga abantu ba Yisirayeli ekisa kye n'okwesigibwa.
3
Abantu mu nsi zonna balabye nga Katonda waffe bw'awangudde.
4
Mwe ab'oku nsi mwenna, Katonda mumuyimbire n'essanyu, muyimbe musaakaanye, mumutendereze.
5
Muyimbe okutendereza Mukama, mumutendere ku ddoboozi ery'ennanga.
6
Mufuuwe amakondeere n'eŋŋombe, musaakaanyize Mukama Kabaka waffe.
7
Ennyanja ewuume n'ebigirimu byonna, ensi eyimbe n'abagiriko bonna.
8
Emigga gikube mu ngalo, ensozi ziyimbire wamu n'essanyu,
9
mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okusalira ensi omusango. Aligugisalira mu bwesimbu aliramula abantu mu bwenkanya.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes