×

BIBULIYA ENTUKUVU

Zabbuli 98

1
Zabbuli. Muyimbire Omukama oluyimba oluggya, kubanga akoze ebyewuunyisa; ddyo we n'omukono gwe omutukuvu bimuwanguzza.
2
Omukama amanyisizza obulokozi bwe, alaze obutuufu bwe eri amawanga.
3
Ajjukidde ekisa kye, n'obwesigwa bwe eri ennyumba ya Yisirayeli; enkingi zonna ez'ensi zirabye obulokozi bwa Katonda.
4
Ayi ensi yonna, mukubire Omukama emizira, musaakaanye ennyimba, mutendereze.
5
Muyimbire omukama ku nnanga, ku nnanga n'amaloboozi amanyuvu,
6
n'amakondeere n'amaloboozi g'eŋŋombe; mukube emizira mu maaso g'Omukama Kabaka.
7
Ennyanja ewulugume na byonna ebigijjuddemu, ensi na bonna abagisulamu.
8
Emigga gikube mu ngalo, n'ensozi zisaakaanyize wamu olw'essanyu,
9
mu maaso g'Omukama kubanga azze; azze okulamula ensi; ajja kulamula ensi mu butuukirivu, n'abantu be mu bwenkanya.
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Gaabu Hantumya