Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, kubanga akoze eby’ekitalo. Omukono gwe ogwa ddyo, era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi. |
| 2 |
| Mukama ayolesezza obulokozi bwe, era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe. |
| 3 |
| Ajjukidde okwagala kwe okutakoma n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri. Enkomerero z’ensi yonna zirabye obulokozi bwa Katonda waffe. |
| 4 |
| Muyimbire Mukama n’essanyu lingi mwe ensi yonna; muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu. |
| 5 |
| Mutendereze Mukama n’ennanga ez’enkoba; n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba, |
| 6 |
| n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe. Muyimbe n’essanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka. |
| 7 |
| Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu, n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze. |
| 8 |
| Emigga gikube mu ngalo n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu; |
| 9 |
| byonna biyimbe mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okulamula ensi. Aliramula ensi mu butuukirivu; aliramula amawanga mu bwenkanya. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/098.mp3
150
98