×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 98

1
Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya; Kubanga akoze eby'amagero: Engalo ze eza ddyo, n'omukono gwe omutukuvu bimuleetedde obulokozi.
2
Mukama amanyisizza obulokozi bwe: Obutuukirivu bwe abwolekerezza ddala mu maaso g'amawanga.
3
Ajjukidde okusaasira kwe n'obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isiraeri: Enkomerero zonna ez'ensi zirabye obulokozi bwa Katonda waffe.
4
Muyimbe n'eddoboozi ery'essanyu eri Mukama, mmwe ensi zonna: Muleete oluyimba muyimbe olw'essanyu, weewaawo, muyimbe eby'okutendereza.
5
Muyimbe okutendereza Mukama n'ennanga; N'ennanga era n'eddoboozi eriyimba.
6
N'amakondeere n'eddoboozi ery'akagombe Muleete eddoboozi ery'essanyu mu maaso ga Kabaka, Mukama.
7
Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo; Ensi zonna, n'abo abazituulamu;
8
Amazzi gakube mu ngalo; Ensozi ziyimbire wamu olw'essanyu;
9
Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okusalira ensi omusango: Alisalira ensi emisango egy'ensonga, Aliramula amawanga n'obutuukirivu.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes