Luganda Bible
|
| 1 |
| Mukama afuga; amawanga gakankane; Atuula wakati wa bakerubi; ensi esagaasagane. |
| 2 |
| Mukama mukulu mu Sayuuni; Era ali waggulu okusinga amawanga gonna. |
| 3 |
| Batendereze erinnya lyo ekkulu era ery'entiisa. Ye mutukuvu. |
| 4 |
| Era amaanyi ga kabaka gaagala omusango ogw'ensonga; Ggwe onyweza obutuukirivu, Otuukiriza omusango n'obutuukirivu mu Yakobo. |
| 5 |
| Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe, Era musinzizenga ku ntebe y'ebigere bye: Ye mutukuvu. |
| 6 |
| Musa ne Alooni mu bakabona be, Ne Samwiri mu abo abakoowoola erinnya lye; Baakaabira Mukama, n'abayitaba. |
| 7 |
| Yayogerera nabo mu mpagi ey'ekire: Baakwata bye yategeeza; n'ekiragiro kye yabawa. |
| 8 |
| Wabaddamu, ai Mukama Katonda waffe: Wali Katonda abasonyiwa, Newakubadde nga wabawalana eggwanga olw'ebikolwa byabwe. |
| 9 |
| Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe, Musinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu; Kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/099.mp3
150
99