×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 99

1
Mukama ye Kabaka, amawanga gakankane. Atuula ku ntebe ye eri ku bakerubi, ensi esagaasagane.
2
Mukama mukulu mu Siyooni, ab'amawanga gonna abasukkulumye.
3
Batendereze erinnya lye ekkulu ery'entiisa, ye ye Mutuukirivu.
4
Kabaka ow'obuyinza, amazima g'oyagala. Wassaawo okugobanga ensonga, n'obwesimbu mu bantu ba Yakobo.
5
Mugulumizenga Mukama Katonda waffe, muvuuname w'ateeka ebigere bye, mumusinze ye ye Mutuukirivu.
6
Musa ne Arooni baali bakabona be, ne Samweli ye omu ku baamukoowoolanga. Baayita Mukama n'abaanukula.
7
Yayogera nabo ng'asinziira mu mpagi ey'ekire; baakwata amateeka n'ebiragiro bye yabawa.
8
Ayi Mukama Katonda waffe, wabaanukula. Walaga nti ggwe Katonda asonyiwa, wadde wababonereza olw'ebibi byabwe.
9
Mugulumize Mukama Katonda waffe, mumusinze ku lusozi lwe olutukuvu, kubanga Mukama Katonda waffe Mutuukirivu.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes