×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 99

1
Mukama ye kabaka afuga; amawanga gakankane! Atuula ku ntebe ye eri ku bakerubi; ensi esagaasagane!
2
Mukama mukulu mu Sayuuni; Era ali waggulu okusinga amawanga gonna.
3
Batendereze erinnya lyo ekkulu era ery'entiisa. Ye ye mutukuvu.
4
Kabaka ow'obuyinza amazima g'oyagala; era osala omusango mu bwenkanya; Ggwe onyweza obutuukirivu, Olamula omusango mu mazima n'obutuukirivu mu bantu bo Yakobo.
5
Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe, Era musinzizenga ku ntebe ye w'ateeka ebigere bye! Ye ye mutukuvu!
6
Musa ne Alooni bamu ku bakabona be, Ne Samwiri yali omu ku abo abakoowoolanga erinnya lye; Baakaabirira Mukama, n'abayitaba.
7
Yayogerera nabo mu mpagi ey'ekire: Baakwata bye yategeeza, n'ekiragiro kye yabawa.
8
Wabaddamu, Ayi Mukama Katonda waffe: Wali Katonda abasonyiwa, Newakubadde nga wawalana eggwanga olw'ebikolwa byabwe.
9
Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe, Mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu; Kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes