|
| 1 |
|
| Gano ge mannya g'abaana ba Isiraeri abaayingira mu Misiri ne Yakobo n'ab'omu nnyumba zaabwe. |
|
| 2 |
|
| Lewubeeni, Simyoni, Leevi ne Yuda; |
|
| 3 |
|
| Isakaali, Zebbulooni, ne Benyamini; |
|
| 4 |
|
| Ddaani ne Nafutaali, Gaadi ne Aseri. |
|
| 5 |
|
| Abantu bonna ab'ezzadde lya Yakobo, baali nsanvu (70). Naye ye Yusufu yali yabeera dda mu Misiri. |
|
| 6 |
|
| Yusufu, ne baganda be bonna, n'ab'omu mulembe ogwo gwonna ne bafa. |
|
| 7 |
|
| Abaana ba Isiraeri ne bazaala, ne beeyongera obungi, ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula mu nsi yonna ey'e Misiri. |
|
| 8 |
|
| Awo kabaka omuggya ataamanya Yusufu, n'alya obwakabaka. |
|
| 9 |
|
| N'agamba abantu be nti, “Mulabe, abaana ba Isiraeri bangi nnyo, era ba maanyi okutusinga; |
|
| 10 |
|
| kale tubasalire amagezi, baleme okweyongera obungi, olutalo bwe lulijja baleme okwegatta n'abalabe baffe okutulwanyisa era n'okututolokako.” |
|
| 11 |
|
| Kyebaava babateekako ababakozesa okubabonyaabonya n'emirimu emizibu ennyo. Ne bazimbira Falaawo Pisomu ne Lamusesi, okuba ebibuga eby'amaterekero. |
|
| 12 |
|
| Naye Abamisiri gye baakoma okubonyaabonya abaana ba Isiraeri, n'abaana ba Isiraeri gye baakoma okweyongera obungi n'okubuna mu nsi eyo. Abamisiri ne banakuwala nnyo olw'abaana ba Isiraeri; |
|
| 13 |
|
| ne babatuntuza nnyo n'emirimu egy'amaanyi, |
|
| 14 |
|
| ne bakaluubiriza obulamu bwabwe n'emirimu emizibu, egy'okubumba amatoffaali, n'okukolanga n'amaanyi mu nsuku ne mu nnimiro zaabwe nga tebabasaasira. |
|
| 15 |
|
| Awo Kabaka w'e Misiri n'agamba Sifira ne Puwa, abaazaalisanga Abaebbulaniya nti, |
|
| 16 |
|
| “Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abaebbulaniya, ne mulaba ng'omwana wa bulenzi, mumuttanga, naye bw'abanga ow'obuwala, mumulekanga n'aba mulamu.” |
|
| 17 |
|
| Naye abazaalisa ne batya Katonda, ne batakola nga bwe baalagirwa kabaka w'e Misiri, ne baleka abaana ab'obulenzi nga balamu. |
|
| 18 |
|
| Kabaka w'e Misiri n'ayita abazaalisa abo, n'abagamba nti, “Lwaki mukola bwe mutyo, okuleka abaana ab'obulenzi nga balamu?” |
|
| 19 |
|
| Abazaalisa ne baddamu Falaawo nti, “Abakazi Abaebbulaniya tebali ng'abakazi Abamisiri; kubanga bo b'amaanyi, abazaalisa we bagenda okubatuukirako nga baamaze dda okuzaala.” |
|
| 20 |
|
| Katonda n'awa abazaalisa abo omukisa; abaana ba Isiraeri ne beeyongera obungi, ne baba baamaanyi nnyo. |
|
| 21 |
|
| Olw'okubanga abazaalisa baatya Katonda, n'abawa abaana. |
|
| 22 |
|
| Falaawo n'alagira abantu be bonna, n'abagamba nti, “Buli mwana ow'obulenzi alizaalibwa Omwebbulaniya mumusuulanga mu mugga, naye buli mwana ow'obuwala mumulekanga n'aba mulamu.” |
|
|
|
|