Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Nja kusindikira kabaka w'e Misiri n'abantu be ekibonerezo ekirala kimu kyokka, oluvannyuma ajja kubaleka mugende, abagobe na bugobi muno. |
| 2 |
| Kaakano yogera eri Abayisirayeli, ogambe abasajja n'abakazi, basabe baliraanwa baabwe, babawe ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu.” |
| 3 |
| Mukama n'awa Abayisirayeli okwagalibwa mu Bamisiri. Naddala abakungu ba kabaka n'abantu bonna, ne balaba nga Musa mukulu nnyo mu nsi ey'e Misiri. |
| 4 |
| Awo Musa n'agamba kabaka nti: “Mukama agamba nti: ‘Nga mu ttumbi, nja kuyita mu Misiri, |
| 5 |
| era abaana bonna abaggulanda ab'obulenzi mu nsi ey'e Misiri bajja kufa, okuva ku wa kabaka atuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuusa ku w'omuzaana asa ku lubengo. N'abaana b'ensolo ababereberye nabo bajja kufa. |
| 6 |
| Wajja kubaawo okukuba ebiwoobe mu nsi yonna ey'e Misiri okutabangawo, era okutaliddayo kubaawo. |
| 7 |
| Naye tewajja kuba wadde embwa eboggolera n'omu mu Bayisirayeli oba ensolo zaabwe, mulyoke mumanye nti nze MUKAMA ayawula Abamisiri ku Bayisirayeli.’ |
| 8 |
| Abakungu bo bano bonna bajja kujja gye ndi banvuunamire nga bagamba nti: ‘Genda n'abantu bo bonna b'okulembera.’ Ebyo nga biwedde, nja kugenda.” Musa n'ava awali kabaka n'obusungu bungi. |
| 9 |
| Mukama n'agamba Musa nti: “Kabaka tajja kubawuliriza, ndyoke nnyongere okukola ebyamagero mu nsi ey'e Misiri.” |
| 10 |
| Musa ne Arooni ne bakola ebyamagero bino byonna mu maaso ga kabaka. Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka, n'ataleka bantu ba Yisirayeli kuva mu nsi ye. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/exodus/011.mp3
40
11