EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Mukama n'agamba Musa nti, “Njakuleetera Falaawo ne Misiri ekibonyoobonyo kimu kyokka, n'oluvannyuma alibaleka ne mugenda; bw'alibaleka, alibagobera ddala okuva mu nsi muno. |
| 2 |
| Kaakano gamba abantu, buli musajja asabe muliraanwa we, era na buli mukazi asabe muliraanwa we, ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu.” |
| 3 |
| Mukama n'awa Abaisiraeri okwagalibwa Abamisiri. Naddala Musa, ate ye yali mukulu nnyo mu nsi ey'e Misiri; mu maaso g'abaddu ba Falaawo, ne mu maaso g'abantu bonna. |
| 4 |
| Musa n'agamba Falaawo nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Awo nga mu ttumbi ndiyita wakati mu Misiri; |
| 5 |
| n'ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri balifa, okuva ku mubereberye wa Falaawo atuula ku ntebe ey'obwakabaka okutuusa ku mubereberye w'omuzaana asa ku lubengo; n'ebibereberye byonna eby'ebisibo. |
| 6 |
| Era walibeera okukaaba okungi mu nsi yonna ey'e Misiri, okutabangawo era okutaliddamu kubaawo nga kuno nate. |
| 7 |
| Naye mu baana ba Isiraeri tewaliba wadde embwa eboggolera omu kubo, wadde ensolo zaabwe; mulyoke mumanye Mukama bw'ayawula wakati w'Abamisiri n'Abaisiraeri.’ |
| 8 |
| Era abaddu bo bano bonna balijja gye ndi, ne banvuunamira nga boogera nti, ‘Genda n'abantu bo bonna abakugoberera,’ era oluvannyuma ndigenda.” Musa n'ava eri Falaawo n'obusungu bungi. |
| 9 |
| Mukama n'agamba Musa nti, “Falaawo talibawulira; eby'amagero byange biryoke byeyongere mu nsi ey'e Misiri.” |
| 10 |
| Musa ne Alooni ne bakola eby'amagero bino byonna mu maaso ga Falaawo; Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'ataleka baana ba Isiraeri kuva mu nsi ye. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/exodus/011.mp3
40
11