era ennyumba bw'ebanga entono nga teemaleewo mwana gw'endiga, kale abeere ne muliraanwa we ali okumpi n'ennyumba ye bamutwale ng'omuwendo gw'emyoyo gy'abantu bwe guli; buli muntu nga bw'alya, mulibalibwa ku mwana gw'endiga.
Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, n'engatto nga ziri mu bigere byammwe, n'omuggo nga guli mu mukono gwammwe: mugiryanga mangu: eyo kwe kuyitako kwa Mukama.
Kubanga ndiyita mu nsi ey'e Misiri mu kiro kiri, ndikuba ababereberye bonna mu nsi ey'e Misiri, omuntu era n'ensolo; era ku bakatonda bonna ab'e Misiri ndisala emisango: nze Mukama.
Awo omusaayi gulibabeerera akabonero ku nnyumba ze mulimu: nange bwe ndiraba omusaayi, ndibayitako, so tewalibeera lumbe ku mmwe okubazikiriza, bwe ndikuba ensi ey'e Misiri.
Era olunaku luno lulibabeerera ekijjukizo, na mmwe munaalwekuumanga embaga ya Mukama: mu mirembe gyammwe gyonna munaalwekuumanga embaga mu tteeka eritaggwaawo.
Mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi olweggulo, mulirya emigaati egitazimbulukuswa, okutuusa olunaku olw'amakumi abiri mu lumu olweggulo.
Nammwe mulitwala omuvumbo gwa ezobu ne munnyika mu musaayi ogw'omu kibya, ne mumansulira ku kabuno n'emifuubeeto gyombi n'omusaayi ogw'omu kibya; temufuluma omuntu yenna mu mulyango ogw'ennyumba ye okutuusa enkya.
Kubanga Mukama aliyita okukuba Abamisiri; awo bw'aliraba omusaayi ku kabuno ne ku mifuubeeto gyombi, Mukama aliyita ku mulyango, so talireka muzikiriza okuyingira mu nnyumba zammwe okubakuba.
mulyogera nti Ye ssaddaaka ey'okuyitako kwa Mukama eyayita ku nnyumba z'abaana ba Isiraeri mu Misiri bwe yakuba Abamisiri n'awonya ennyumba zaffe. Abantu ne bakutama ne basinza.
N'abayita Musa ne Alooni ekiro, n'ayogera nti Mugolokoke muve mu bantu bange, mmwe era n'abaana ba Isiraeri; mugende, mumuweereze Mukama nga bwe mwayogera.
Ne bookya emigaati egitazimbulukuswa n'obutta bwe baggya mu Misiri, kubanga bwali nga tebunnassibwamu ekizimbulukusa; kubanga baagobebwa mu Misiri nga tebayinza kulwa, so baali tebannaba kwefumbira mmere yonna: