Musa n'abagamba abantu nti Mujjukiranga olunaku luno, lwe mwaviiramu mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu: kubanga mu maanyi g'omukono Mukama mwe yabaggya mu kifo ekyo: tebalyanga ku migaati egizimbulukuswa.
Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi y'omu Kanani n'ey'Omukiiti n'ey'omu Amoli, n'ey'Omukiivi, n'ey'omu Yebusi, gye yalayirira bajjajja bo okugikuwa, ensi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki, oneekuumanga okuweereza kuno mu mwezi guno.
Emigaati egitazimbulukuswa giriibwe mu nnaku ezo omusanvu; so tegiirabikenga gy'oli emigaati egizimbulukuswa, so tekirirabika ekizimbulukusa gy'oli, mu nsalo zo zonna.
Era ginaakubeereranga akabonero ku mukono gwo, era ekijjukizo wakati w'amaaso go, amateeka ga Mukama galyoke gabeere mu kamwa ko: kubanga mu mukono ogw'amaanyi Mukama mwe yakuggira mu Misiri.
Era onoonunulanga buli mbereberye y'endogoyi n'omwana gw'endiga; era oba nga tooyagalenga kuginunula, onoogimenyanga obulago: era ababereberye bonna mu baana bo onoobanunulanga.
Awo omwana wo bw'anaakubuuzanga mu biro ebirijja ng'ayogera nti Kiki kino? onoomugambanga nti Mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggira mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu:
naye Katonda n'abeetoolooza abantu mu kkubo ery'eddungu ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu: abaana ba Isiraeri ne balinnya nga balina ebyokulwanyisa okuva mu nsi ey'e Misiri.
Mukama n'agenda mu maaso gaabwe emisana mu mpagi ey'ekire okubakulembera, mu kkubo; era ekiro mu mpagi ey'omuliro, okubaakira: balyoke batambule emisana n'ekiro;