“Bagambe abaana ba Isiraeri badde emabega basule mu maaso ga Pikakirosi, wakati wa Migudooli n'ennyanja, mu maaso ga Baalizefoni; emitala w'eri mulisula ku mabbali g'ennyanja.
Ne bagamba kabaka w'e Misiri nti abantu badduse; omutima gwa Falaawo n'ogw'abaddu be ne gukyukira ku bantu, ne boogera nti, “Kiki kino kye tukoze, okuleka Isiraeri obutatuweereza?”
Abamisiri ne babagoberera emabega, embalaasi zonna n'amagaali gonna aga Falaawo, n'ababe abeebagala embalaasi n'eggye lye, ne babatuukako nga basuze kumpi n'ennyanja, ku mabbali ga Pikakirosi, mu maaso ga Baalizefoni.
Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isiraeri ne bayimusa amaaso gaabwe, laba, Abamisiri nga babagoberera emabega waabwe; ne batya nnyo. Abaana ba Isiraeri ne bakaabirira Mukama.
Kino si ky'ekigambo kye twakugambira mu Misiri, nga twogera nti, ‘Tuleke tuweereze Abamisiri?’ Kubanga kirungi okuweereza Abamisiri okusinga okufiira mu ddungu.”
Nange, laba, nze ndibakakanyaza emitima Abamisiri, baliyingira okubagoberera; nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo ne ku ggye lye lyonna, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala.
N'aggyako bannamuziga ab'amagaali gaabwe, ne bagagoba nga gazitowa; Abamisiri ne boogera nti, “Tudduke mu maaso ga Isiraeri; kubanga Mukama abalwanirira ku Bamisiri.”
Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, ennyanja n'edda mu maanyi gaayo nga bukedde; Abamisiri ne bagidduka; Mukama Abamisiri n'abakunkumulira wakati mu nnyanja.