Luganda Bible
|
| 1 |
| Katonda n'ayogera ebigambo bino byonna, ng'ayogera nti |
| 2 |
| Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu. |
| 3 |
| Tobanga na bakatonda balala we ndi. |
| 4 |
| Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w'ettaka: |
| 5 |
| tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, abiwalana ku baana ebibi bya bajjajja baabwe okutuusa ku mirembe egy'oku bannakasatwe ne ku bannakana, egy'abantu abankyawa; |
| 6 |
| era addiramu abantu nga nkumi na nkumi abanjagala, abakwata amateeka gange. |
| 7 |
| Tolayiriranga bwereere erinnya lya Mukama Katonda wo: kubanga mu maaso ga Mukama omusango gulimusinga omuntu alayirira obwereere erinnya lye. |
| 8 |
| Jjukira olunaku olwa ssabbiiti, okulutukuzanga. |
| 9 |
| Ennaku omukaaga okolanga emirimu gyo gyonna: |
| 10 |
| naye olunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti eri Mukama Katonda wo: olunaku olwo tolukolerangamu mirimu gyonna gyonna; so naawe wekka, newakubadde omwana wo omulenzi, newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ebisolo byo, newakubadde munnaggwanga ali omumwo: |
| 11 |
| kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu: Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa ssabbiiti, n'alutukuza. |
| 12 |
| Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa: ennaku zo zibe nnyingi ku nsi gy'akuwadde Mukama Katonda wo. |
| 13 |
| Tottanga. |
| 14 |
| Toyendanga. |
| 15 |
| Tobbanga. |
| 16 |
| Towaayirizanga muntu munno. |
| 17 |
| Teweegombanga ennyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno. |
| 18 |
| Abantu bonna ne balaba okubwatuka, n'enjota, n'eddoboozi ly'eŋŋombe, n'olusozi nga lunyooka omukka: abantu bwe baalaba ne bakankana, ne bayimirira wala. |
| 19 |
| Ne bagamba Musa nti Ggwe yogera naffe, lwe tunaawulira: naye Katonda aleme okwogera naffe, tuleme okufa. |
| 20 |
| Musa n'agamba abantu nti Temutya: kubanga Katonda azze okubakema, era entiisa ye ebeere mu maaso gammwe, muleme okwonoona. |
| 21 |
| Abantu ne bayimirira wala, Musa n'asemberera ekizikiza ekikutte Katonda gy'ali. |
| 22 |
| Mukama n'agamba Musa nti Bw'otyo bw'ogamba abaana ba Isiraeri nti Mmwe mulabye nga nnyimye mu ggulu okwogera nammwe. |
| 23 |
| Temukolanga bakatonda balala we ndi, bakatonda b'effeeza, newakubadde bakatonda b'ezzaabu, temubeekoleranga. |
| 24 |
| Ekyoto eky'ettaka onkolere, osseeko ebyo by'owaayo ebyokebwa n'ebyo by'owaayo olw'emirembe, endiga zo n'ente zo: buli wantu we njijukirizanga erinnya lyange ndijja gy'oli nange ndikuwa omukisa. |
| 25 |
| Era bw'olinkolera ekyoto eky'amayinja, tokizimbyanga mayinja agatemebwa: kubanga bw'olikiyimusaako ekyuma kyo, ng'okireetedde obugwagwa. |
| 26 |
| So tolinnyanga ku kyoto kyange ku madaala, oleme okukunamirako. |
|
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/exodus/020.mp3
40
20