×

Luganda Bible 2003

Okuva 23

1
“Toosaasaanyenga bigambo bya bulimba, era tooyambenga muntu mubi, ng'owa obujulizi obw'obulimba.
2
Toogobererenga abasinga obungi, bwe bakola ekibi, oba bwe bawa obujulizi obukyamya ensala ey'amazima.
3
Teweekubirenga ku ludda lwa mwavu asinge omusango.
4
“Bw'osanganga ente, oba endogoyi y'omulabe wo ng'ebuze, ogizzangayo gy'ali.
5
Bw'olabanga endogoyi y'omuntu akukyaye ng'egudde olw'obuzito bwe yeetisse, muyambe ogikwatireko eyimirire, toyitangawo buyisi.
6
“Toogaanenga kusalira mwavu mazima mu musango gwe.
7
Weewalanga okwogera eby'obulimba. Atalina kabi na musango tomuttanga, kubanga buli akola ekibi, sirirema kumusalira musango kumusinga.
8
Tokkirizanga kuweebwa nguzi, kubanga enguzi eziba abantu amaaso, ne batalaba kituufu, era ekyamya ebigambo by'abatalina musango.
9
Toyisanga bubi mugwira. Mumanyi omugwira nga bw'awulira, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi ey'e Misiri.
10
“Okumala emyaka mukaaga, osiganga ennimiro yo, n'okungulanga by'ebazizza.
11
Naye mu mwaka ogw'omusanvu, ogiwummuzanga n'otogirima, abaavu mu mmwe balyoke balyenga ebikulamu. Bye baleseewo, ensolo ez'omu ttale zinaabiryanga. Bw'otyo bw'onookolanga n'ennimiro yo ey'emizabbibu, n'ey'emizayiti.
12
“Mu nnaku mukaaga, okolanga emirimu gyo, naye ku lunaku olw'omusanvu, owummulanga, abaddu bo n'abagwira abakukolera balyoke bawummule, era n'ente zo n'endogoyi zo nazo ziwummule.
13
“Mukuumenga byonna bye mbagambye. Temuusinzenga balubaale wadde okukoowoolanga amannya gaabwe.
14
“Munaakuzanga embaga ssatu buli mwaka, okunzisaamu ekitiibwa.
15
Munaakuzanga Embaga ey'Emigaati egitazimbulukusiddwa. Okumala ennaku musanvu munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa, nga bwe nabalagira mu kiseera ekyateekebwawo mu mwezi gwa Abibu, kubanga omwezi ogwo gwe mwaviiramu mu Misiri. Tewabanga n'omu ajja ngalo nsa okunsinza.
16
“Munaakuzanga Embaga ey'Amakungula, nga mutandika okukungula ebibala byammwe bye mwasiga mu nnimiro, era munaakuzanga Embaga ey'Ensiisira, ku nkomerero y'omwaka, bwe munaakungulanga ebibala mu nnimiro zammwe.
17
Buli mwaka ku mbaga ezo essatu, abasajja bonna mu mmwe, banajjanga okunsinza Nze Mukama Katonda.
18
Omusaayi gw'ensolo gye muntambiridde, temuugumpeerenga wamu n'emigaati egizimbulukusiddwa. Era n'amasavu g'ensolo ezitambiddwa ku mbaga yange, tegaasigalengawo okutuusa enkeera.
19
Ebibala ebisooka okukungulwa mu nnimiro zammwe, mubireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wammwe. “Temuufumbirenga mbuzi nto mu mata ga nnyina waayo.
20
“Nja kutuma malayika okubakulemberamu, abakuume mu kkubo, abatuuse mu kifo kye nateekateeka.
21
Mumusseemu ekitiibwa, era mumuwulire. Temumujeemera, kubanga nze mmutumye, era tajja kusonyiwa bujeemu bwammwe.
22
Naye bwe munaawuliranga ne mukolanga byonna bye ndagira, nnaalwanyisanga abalabe bammwe bonna.
23
Malayika wange alibakulemberamu, n'abayingiza mu nsi y'Abaamori, n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abakanaani, n'Abahiivi era n'Abayebusi, era abo ndibazikiriza.
24
Temuuvuunamirenga balubaale baabwe, wadde okubasinzanga, era temuukoppenga mpisa za bantu abo, naye muzikirizanga balubaale baabwe, ne mumenyaamenya n'empagi zaabwe.
25
Bwe munaasinzanga Nze Mukama Katonda wammwe, ndibawa omukisa, ne mufuna emmere n'amazzi, era ndibaggyako obulwadde bwammwe bwonna.
26
Mu nsi yammwe tewaliba mukazi avaamu lubuto, oba aliba omugumba, era ndibawangaaza mmwe.
27
“Nditiisa abantu ababeekiika mu maaso, nditabulatabula abantu bonna be mulwanyisa, era ndireetera abalabe bammwe bonna okukyuka babadduke mmwe.
28
Ndisindika ennumba okubakulemberamu, ezirigoba Abahiivi, n'Abakanaani, n'Abahiiti nga mutuuka.
29
Siribagoba mu mwaka gumu, ensi ereme okuzika, n'ensolo ez'omu ttale zireme okubayitirirako mmwe obungi.
30
Naye abantu abo ndibagoba mpolampola, okutuusa mmwe lwe mulyeyongera obungi, ensi eyo yonna n'eba yammwe.
31
Nditeekawo ensalo z'ensi yammwe, okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja ey'Abafilistiya, n'okuva ku ddungu okutuuka ku Mugga Ewufuraate. Ndibawa obuyinza ku batuuze b'omu nsi eyo, era mulibagobamu nga mutuuka.
32
Temukolanga ndagaano nabo, wadde ne balubaale baabwe.
33
Temulekanga bantu abo kubeeranga mu nsi yammwe, baleme kukola kibi mu maaso gange, kubanga bwe mulisinza balubaale baabwe, tekirirema kubasuula mmwe mu mutego.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes