×

Luganda Bible 2003

Okuva 26

1
“Mulikola Eweema Entukuvu mu mitanda kkumi egikoleddwa mu lugoye olulungi, olulukiddwa mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, emitanda egyo ne mugitungako bakerubi.
2
Gyonna muligikola nga gyenkanankana, nga buli gumu gwa mita kkumi na bbiri obuwanvu, ne mita bbiri obugazi.
3
Emitanda etaano girigattibwa gyokka, n'emirala etaano girigattibwa gyokka.
4
Mulikola eŋŋango ez'olugoye olwa bbululu ku lukugiro lwa buli mutanda ogw'oku mabbali w'emitanda emigatte.
5
Mulikola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali ku buli mitanda emigatte, eŋŋango ez'oludda olumu nga zitunuuliraganye n'ez'oludda olulala.
6
Era mulikola ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, okugatta awamu emitanda gyombi, Eweema Entukuvu ebeere ngatte wamu.
7
“Mulikola eweema ya mitanda kkumi na gumu egy'olugoye olukoleddwa mu byoya by'embuzi, ebikke ku Weema Entukuvu.
8
Buli mutanda guliba gwa mita kkumi na ssatu obuwanvu, ne mita bbiri obugazi.
9
Emitanda etaano muligigatta wamu gyokka, n'emitanda omukaaga nagyo ne mugigatta gyokka. Omutanda ogw'omukaaga muligufunyamu wabiri mu bwenyi bwa Weema Entukuvu.
10
“Mulikola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali ku buli mitanda emigatte.
11
Mulikola ebikwaso amakumi ataano eby'ekikomo, mubiteeke ku ŋŋango, mugatte Eweema Entukuvu ebeere emu.
12
Ekitundu ekimu ekyokubiri eky'omutanda ekisigaddewo, kirireebeeta ne kibikka emabega wa Weema Entukuvu.
13
Sentimita amakumi ataano ezifisseewo mu buwanvu ku buli ludda, zirireebeeta mu mbiriizi za Weema Entukuvu okugibikka.
14
“Weema Entukuvu era muligikolera eby'okugibikkako bibiri, ekimu nga kya maliba ga ndiga eza sseddume amannyike amamyufu, n'ekirala ekyokungulu nga kya maliba ga mbuzi.
15
“Mulikola embaawo z'Eweema Entukuvu ez'obusimba, ez'omuti ogwa akasiya.
16
Buli lubaawo luliba lwa mita nnya obuwanvu, ne sentimita nkaaga obugazi,
17
nga luliko ennimi bbiri kwe ziyinza okugattirwa. Embaawo zonna ez'Eweema Entukuvu, bwe mutyo bwe mulizikola.
18
Mulikola embaawo amakumi abiri ez'oludda olw'ebukiikaddyo,
19
era n'ebinnya amakumi ana ebya ffeeza wansi waazo: ebinnya bibiri wansi wa buli lubaawo omw'okuteeka ennimi zaalwo ebbiri.
20
Mulikola embaawo amakumi abiri ez'oludda olw'ebukiikakkono obw'Eweema Entukuvu,
21
n'ebinnya amakumi ana ebya ffeeza, ebinnya bibiri wansi wa buli lubaawo.
22
Ez'oku ludda olw'Eweema Entukuvu olw'emabega mu bugwanjuba, mulikola embaawo mukaaga,
23
n'embaawo bbiri ez'omu nsonda.
24
Ezo zombi zirigattibwa okuva wansi okutuukira ddala waggulu, ne bazisiba n'empeta emu. Bwe mutyo bwe mulikola embaawo zombi ez'omu nsonda ebbiri.
25
Walibaawo embaawo munaana n'ebinnya byazo kkumi na mukaaga ebya ffeeza, bibiri wansi wa buli lubaawo.
26
“Mulikola emikiikiro kkumi n'etaano egy'omuti ogwa akasiya: etaano ku mbaawo ez'oludda olumu olw'Eweema Entukuvu,
27
etaano ku mbaawo ez'oku ludda olw'emabega olw'ebugwanjuba.
28
Omukiikiro ogwa wakati w'embaawo guliyitamu erudda n'erudda.
29
Embaawo mulizibikkako zaabu, era muliziteekako empeta eza zaabu ez'okusiba emikiikiro, era nagyo muligibikkako zaabu.
30
Mulizimba Weema Entukuvu mu ngeri eyakulagibwa ku lusozi.
31
“Mulikola olutimbe olw'olugoye olulungi, olulukiddwa mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'emmyufu, era nga lutungiddwako bakerubi.
32
Mulirukwasa n'amalobo aga zaabu ku mpagi nnya ez'omuti ogwa akasiya, ezibikkiddwako zaabu, era ensimbe mu binnya bina ebya ffeeza.
33
Muliwanika olutimbe ku malobo ne luleebeeta, ne muteeka emabega waalwo Essanduuko ey'Endagaano. Olutimbe olwo lulibaawuliramu Ekifo Ekitukuvu, n'Ekifo Ekitukuvu ennyo.
34
Muliteeka entebe ey'obusaasizi ku Ssanduuko ey'Endagaano, mu Kifo Ekitukuvu ennyo.
35
Emmeeza muligiteeka ku ludda olulala olw'olutimbe, n'ekikondo ky'ettaala mulikiteeka mu maaso g'emmeeza, ku ludda lw'Eweema Entukuvu olw'ebukiikaddyo, ng'emmeeza eri mu bukiikakkono.
36
“Omulyango oguyingira mu Weema muligukolera olutimbe olw'olugoye olulungi olulukiddwa mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era olutungiddwako omudalizo.
37
Olutimbe olwo mulirukolera empagi ttaano ez'omuti ogwa akasiya, ne muzibikkako zaabu. Amalobo gaazo galibeera ga zaabu, era mulizikolera ebinnya bitaano eby'ekikomo.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes