×

Luganda Bible 2003

Okuva 27

1
“Mulikola alutaari ey'omuti ogwa akasiya, eyenkanankana ku njuyi zonna: mita bbiri n'ebitundu bibiri obuwanvu, ne mita bbiri n'ebitundu bibiri obugazi, ate mita emu n'ebitundu bisatu obugulumivu.
2
Mulikola amayembe gaayo ku nsonda zaayo ennya, nga ga muti gwe gumu n'ogwayo, era mulibikkako ekikomo.
3
Era mulikola eby'okukozesa ku alutaari eby'okuyoolerangamu evvu: mulikola n'ebijiiko, n'ebibya ne wuuma n'ensaniya. Ebintu byayo byonna mulibikola nga bya kikomo.
4
Muligikolera ekitindiro ekiruke eky'ekikomo, ne mugisibako empeta nnya ku nsonda zaakyo ennya.
5
Mulikiteeka wansi w'omugo gwa alutaari, ne kibeera wakati w'obugulumivu bwayo.
6
Mulikola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, ne mugibikkako ekikomo,
7
ne mugiyingiza mu mpeta ku buli ludda olw'alutaari, okugisitulirangako.
8
Alutaari eyo muligikola nga ya mbaawo, era ng'erina ebbanga munda. Erikolebwa mu ngeri eyakulagibwa ku lusozi.
9
“Mulikola oluggya lw'Eweema Entukuvu, ne mulwetoolooza entimbe ez'olugoye olulukiddwa obulungi. Ku ludda olw'ebukiikaddyo, entimbe ziriba za mita amakumi ana mu nnya obuwanvu,
10
nga ziwaniriddwa amalobo n'obuuma ebya ffeeza, ku bikondo amakumi abiri eby'ekikomo, ebisimbiddwa mu binnya byabyo amakumi abiri eby'ekikomo.
11
Entimbe bwe zityo bwe ziriba ne ku ludda olw'ebukiikakkono, nga za mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, nga ziwaniriddwa mu binnya byazo amakumi abiri eby'ekikomo.
12
Ku ludda olw'ebugwanjuba, walibaayo entimbe za mita amakumi abiri mu bbiri obuwanvu, n'ebikondo kkumi, n'ebinnya kkumi.
13
Ku ludda olw'ebuvanjuba, oluliko omulyango, oluggya luliba lwa mita amakumi abiri mu bbiri obugazi.
14
Ku buli ludda olw'omulyango, walibeerayo entimbe za mita mukaaga n'ebitundu mukaaga, n'ebikondo bisatu, n'ebinnya bisatu.
15
16
Omulyango gwennyini gulibeeramu olutimbe lwa mita mwenda obuwanvu, olulukiddwa mu lugoye olulungi, mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, nga kutungiddwako omudalizo. Luliwanirirwa ebikondo bina ebisimbiddwa mu binnya bina.
17
Ebikondo byonna okwetooloola oluggya, birigattibwa n'emiziziko egya ffeeza, era amalobo gaabyo galikolebwa nga ga ffeeza, n'ebinnya byabyo nga bya kikomo.
18
Oluggya luliba lwa mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, mita amakumi abiri mu bbiri obugazi ne mita bbiri n'ebitundu bibiri obugulumivu. Entimbe zirikolebwa mu lugoye olulungi, ebinnya biriba bya kikomo.
19
Ebintu byonna eby'okukozesa mu Weema Entukuvu, n'enkondo zaayo zonna, n'enkondo zonna ez'oluggya, biriba bya kikomo.
20
“Oliragira Abayisirayeli bakuleetere amafuta amalungi ag'omuzayiti, ag'okuteeka mu ttaala, esobole okwakanga bulijjo.
21
Arooni ne batabani be baliteeka ettaala mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, ebeerenga ebweru w'olutimbe oluli mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, eyakirenga awo mu maaso gange, okuva olweggulo okutuusa enkya. Etteeka eryo linaakuumibwanga ennaku zonna Abayisirayeli ne bazzukulu baabwe.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes