×

BIBULIYA ENTUKUVU

Okuva 27

1
“Ojja kukola omwaliiro mu muti ogw'akasaana, ng'enjuuyi zaagwo zenkanankana: emikono etaano obuwanvu, emikono etaano obugazi. Omwaliirio gwa kwenkanankana ku njuuyi zombi.
2
Omwaliiro ojja kugukolerako amayembe ku nsonda zaagwo ennya, amayembe gaayo nga gali ddala kuli; ojja kugubikka n'ekikomo.
3
Omwaliiro ojja kugukolerako entamu ez'okuyooleramu evvu ly'amasavu, okole n'ebitiiyo, ebibya ebyeyambisibwa mu kumansira amazzi, entoozo n'enzigyo ez'okutwalirako omuliro. Ebikozesebwa byonna eby'oku mwaliiro obikolanga mu kikomo.
4
Ojja kugukolako ekitindiro nga kigombezeddwa mu kyuma eky'ekikomo, ate ku nsonda z'ekitindiro ennya osseeko empeta nnya ez'ekikomo.
5
Ekitindiro ekyo okissanga munda w'omukiikiro gw'omwaliiro, wansi waagwo, mu makkati g'obugulumivu bw'omwaliiro.
6
Era omwaliiro ogukoleranga emisituliro mu muti ogw'akasaana, ogibikkangako ekikomo
7
ogiyisanga mu mpeta, giryoke gibeere eruuyi n'eruuyi w'omwaliiro ng'esituliddwa.
8
Omwaliiro ogukolanga mu mbaawo, nga mwereere munda; ogukolanga nga bw'olagiddwa ku lusozi.
9
“Ojja kukola oluggya lw'Ekisulo. Ku ludda olw'emaserengeta, entimbe z'oluggya ziriba za lugoye olwa bafuta olulange, emikono kikumi obuwanvu ku luuyi olumu.
10
Ebikondo byalwo amakumi abiri n'entobo zaabyo amakumi abiri nga za kikomo; n'amalobo g'ebikondo n'emikiikiro gyabyo nga bya ffeeza.
11
Kye kimu, ne ku luuyi olw'emambuka wa kubeerayo entimbe nga za mikono kikumi obuwanvu n'ebikondo byazo amakumi abiri n'entobo zaabyo amakumi abiri nga za kikomo, n'amalobo g'ebikondo n'emikiikiro nga bya ffeeza.
12
Okusukka obugazi bw'oluggya ku luuyi olw'ebuvanjuba, wa kubeerayo entimbe za mikono ataano, ebikondo byazo kkumi n'entobo zaabyo kkumi.
13
Obugazi bw'oluggya, ku luuyi olw'ebuvanjuba okwolekera enjuba gy'eva, wa kubeerayo emikono ataano.
14
Ku luuyi olumu olw'omulyango, wa kubeerayo entimbe za mikono kkumi n'etaano, n'ebikondo byazo bisatu, n'entobo zaabyo ssatu.
15
Ku luuyi olulala olw'omulyango wa kubeerayo entimbe za mikono kkumi n'etaano, n'ebikondo byazo bisatu, n'entobo zaabyo ssatu.
16
Omulyango ogugenda mu luggya gwa kubeerako olutimbe lwa mikono amakumi abiri obugazi, nga lulukiddwa mu wuzi eza bbululu, kakobe n'entwakaavu n'olugoye olwa bafuta olulange, omulimu gw'omudaliza; lwa kuwanikibwa ku bikondo ebina mu ntobo zaabyo nnya.
17
Ebikondo byonna ebikomera oluggya bya kugattibwa n'emikiikiro egya ffeeza; amalobo g'ebikondo ga kubeera ga ffeeza, entobo zaabyo zo za kikomo.
18
Oluggya lwa kubeerako emikono kikumi mu buwanvu, emikono amakumi ataano mu bugazi, n'emikono etaano mu busimba. Entimbe zonna za kukolebwa mu ngoye eza bafuta ennange n'entobo zaazo za kikomo.
19
Byonna eby'okukozesa mu Kisulo, enkondo zaakyo zonna n'ez'oluggya, byonna biteekwa kubeera bya kikomo.
20
“Ojja kulagira Abayisirayeli bakuleetere omuzigo omukamule ogwa oliva omwereere, gwe gw'ettawaaza okugikuuma ng'eyaka obutasalako.
21
Aroni ne batabani be banaakuumanga ettawaaza eno ng'eyakira mu maaso g'Omukama, mu Weema ey'Ensisinkano, ebweru w'olutimbe oluli mu maaso g'Essanduuku y'Endagaano, okuva akawungeezi okutuusa ku makya. Lino tteeka lya lubeerera ku Bayisirayeli amazadde gaabwe gonna.”
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Save Notes