Era weesembereze gy'oli Alooni muganda wo, n'abaana be wamu naye, mu baana ba Isiraeri, ampeereze mu bwakabona, Alooni, Nadabu, ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali, abaana ba Alooni.
Era oliteeka amayinja abiri ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukiza eri abaana ba Isiraeri: era Alooni alisitula amannya gaabwe mu maaso ga Mukama ku bibegabega bye ebibiri ng'ekijjukizo.
Era Alooni anaasituliranga amannya g'abaana ba Isiraeri mu ky'omu kifuba eky'omusango ku mutima gwe, bw'anaayingiranga mu watukuvu, olw'okujjukiza mu maaso ga Mukama ennaku zonna.
Era oliteeka mu ky'omu kifuba eky'omusango Ulimu ne Suminu; era binaabanga ku mutima gwa Alooni, bw'anaayingiranga mu maaso ga Mukama: ne Alooni anaasituliranga omusango gw'abaana ba Isiraeri ku mutima gwe mu maaso ga Mukama ennaku zonna.
Era ku birenge byagwo olikolako amakomamawanga aga kaniki, n'ag'effulungu, n'ag'olumyufu, okwetooloola ebirenge byagwo; n'endege eza zaabu wakati waago okwetooloola:
Era gunaabanga ku Alooni okuweererezaamu: n'eddoboozi lyagwo linaawulirwanga bw'anaayingiranga mu watukuvu mu maaso ga Mukama, era bw'anaafulumanga, aleme okufa.
Era kanaabeeranga ku kyenyi kya Alooni, ne Alooni anaasitulanga obubi bw'ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye banaatukuzanga mu birabo byabwe byonna ebitukuvu; era kanaabeeranga ku kyenyi kye ennaku zonna, balyoke bakkirizibwe mu maaso ga Mukama.
N'obiteeka ku Alooni muganda wo, ne ku baana be awamu naye; n'obafukako amafuta, n'ojjuza emikono gyabwe, n'obatukuza, balyoke bampeerezenga mu bwakabona.
era zinaabeeranga ku Alooni, ne ku baana be, bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, oba bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza mu watukuvu; baleme okusitula obubi, n'okufa: kinaabeeranga kiragiro emirembe gyonna eri ye n'eri ezzadde lye eririmuddirira.