“Muganda wo Alooni muyiteyo mu baana ba Isirayiri, awamu ne batabani be: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali, bajje bampeereze nga be bakabona.
Omusipi gwayo mu kiwato gukolebwe n’amagezi mangi nga aganaakola ekkanzu ey’obwakabona, era n’ebinaakola bifaanagane, ng’ewuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa.
Olambe amannya ga batabani ba Isirayiri ku mayinja ago abiri ng’omusazi w’amayinja bw’ayola akabonero ku jjinja; ogateeke mu fuleemu ogeetoolooze n’emikugiro egya zaabu.
“Kola ekyomukifuba eky’okutereezanga ensonga, nga mulimu gwa kikugu ng’ogw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange.
“Buli kiseera Alooni lw’anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu, anaabanga ayambadde amannya ga batabani ba Isirayiri ku kyomukifuba eky’okumala ensonga, nga kiri ku mutima gwe, kibeerenga ekijjukizo awali Mukama.
Okwetooloola ebirenge wansi onootungayo amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu; nga mu makkati ga buli langi eziriraanye otobekamu obude obwa zaabu.
Akapande ako kanaabeeranga mu kyenyi kya Alooni, era Alooni y’anaabangako obuvunaanyizibwa nga wabaddewo ebitatuuse mu biweebwayo ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga nga bamaze okubyawula ng’ebirabo byabwe ebitukuvu; kanaabeeranga ku kyenyi kye bulijjo, Mukama alyoke akkirize ebirabo ebyo.
Alooni muganda wo mwambaze ebyambalo ebyo, ne batabani be nabo bw’otyo; olyoke obafukeko amafuta ag’omuzeeyituuni, obaawule, obatukuze, bampeerezenga nga be bakabona.
Alooni ne batabani be banaazambalanga nga bajja mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu oba bwe banaasembereranga Ekyoto okuweereza mu Kifo Ekitukuvu, baleme okwereetako omusango ne bafa. “Alooni ne batabani be ne bazzukulu be abalimuddirira banaakuumanga etteeka lino nga lya nkalakkalira.”