Abantu bwe baalaba nga Musa aluddeyo nnyo ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Alooni, ne bamugamba nti, “Jjangu, otukolere bakatonda abanaatukulembera; kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi y’e Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.”
Awo enkeera, abantu ne bazuukuka mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ne baleeta n’ebiweebwayo olw’emirembe; ne batuula ne balya era ne banywa, ne basituka ne bakola effujjo.
bavudde mangu mu kkubo lye nabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse ne bagisinza, ne bagireetera ebiweebwayo, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isirayiri, abaakuggya mu nsi y’e Misiri!’ ”
Lwaki okwogeza Abamisiri nti, ‘Yabatwala ng’agenderedde kubakola kabi, abattire mu nsozi, abazikirize, bave ku nsi?’ Nyiigulukuka, obusungu obubuubuuka bukuveeko, oleme kuleeta bulabe ku bantu bo.
Jjukira abaweereza bo Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, be walayirira ggwe kennyini, n’obagamba nti, ‘Ndyaza bazzukulu bammwe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era n’ensi eno gye mbasuubizza ndigiwa bazzukulu bammwe, era eribeera omugabo gwammwe ennaku zonna.’ ”
Naye Musa bwe yasemberera olusiisira, n’alengera ennyana, n’alaba n’amazina; obusungu bwe ne bubuubuuka, n’asuula eri ebipande ebyali mu mikono gye, ne bimenyekera awo wansi w’olusozi.
n’ayimirira mu mulyango gw’olusiisira, n’agamba nti, “Ani ali ku ludda lwa Mukama? Ajje wano we ndi.” Awo batabani ba Leevi bonna ne bakuŋŋaanira w’ali.
N’abagamba nti, “Bw’ati Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Buli musajja yeesibe ekitala kye mu kiwato kye, muyiteeyite mu nsiisira okuva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala, nga buli musajja atta muganda we ne mukwano gwe, ne muliraanwa we.’ ”