So tewaabe muntu alinnya naawe, so n'omuntu yenna aleme okulabikira ku lusozi lwonna lwonna; newakubadde endiga newakubadde ente bireme okuliira mu maaso g'olusozi olwo.
N'abajja ebipande bibiri ebifaanana ng'eby'olubereberye; Musa n'agolokoka enkya mu makya, n'alinnya ku lusozi Sinaayi, Mukama nga bwe yamulagidde, n'atwala mu ngalo ze ebipande bibiri eby'amayinja.
N'ayogera nti Bwe mba kaakano nga naalaba ekisa mu maaso go, ai Mukama, Mukama; atambulenga wakati mu ffe, nkwegayiridde; kubanga lye ggwanga eririna ensingo enkakanyavu; era otusonyiwe obutali butuukirivu bwaffe n'okwonoona kwaffe, era otutwale okuba obusika bwo.
tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi, baleme okwenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne babawa ssaddaaka bakatonda baabwe, ne wabaawo akuyita n'olya ku ssaddaaka ye;
n'otwalira abaana bo abasajja ku bawala baabwe, abawala baabwe ne bayenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne babayenza abaana bo nga bagoberera bakatonda baabwe,
Oneekuumanga embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa. Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukuswa, nga bwe nnakulagira, mu kiseera ekyalagirwa mu mwezi Abibu: kubanga mu mwezi Abibu mwe waviira mu Misiri.
Ennaku omukaaga onookolerangamu emirimu, naye ku lunaku olw'omusanvu onoowummulanga: mu nnaku ze balimirangamu ne mu nnaku ze bakungulirangamu onoowummulanga.
Kubanga ndigobamu amawanga mu maaso go, ne ngaziya ensalo zo: so tewaabenga muntu alyegomba ensi yo, bw'onoogendanga okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo emirundi esatu buli mwaka.
N'amala eyo wamu ne Mukama ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; nga talya mmere so nga tanywa mazzi. N'awandiika ku bipande ebigambo eby'endagaano, amateeka ekkumi.
Awo olwatuuka Musa bwe yakka okuva ku lusozi Sinaayi, ebipande bibiri eby'obujulirwa nga biri mu ngalo za Musa, bwe yakka okuva ku lusozi, Musa n'atamanya ng'omubiri ogw'amaaso ge gumasamasa olw'okwogera naye.
abaana ba Isiraeri ne balaba amaaso ga Musa, omubiri ogw'amaaso ge nga gumasamasa: Musa n'azzanga eky'okubikka ku maaso ge, okutuusa lwe yayingiranga okwogera naye.