|
| 1 |
|
| Musa n'akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, n'abagamba nti, “Bino bye bigambo Mukama by'alagidde, mmwe okubikola. |
|
| 2 |
|
| Ennaku omukaaga emirimu gikolerwengamu, naye ku lunaku olw'omusanvu wabenga olunaku olutukuvu gye muli, Ssabbiiti ey'okuwummula okutukuvu eri Mukama; buli anaakolerangako omulimu gwonna anattibwanga. |
|
| 3 |
|
| Temukumanga muliro gwonna mu nnyumba zammwe zonna ku lunaku olwa Ssabbiiti.” |
|
| 4 |
|
| Musa n'abuulira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti, “Kino kye kigambo Mukama ky'alagidde. |
|
| 5 |
|
| Muggye ku bannammwe ekiweebwayo eri Mukama; buli alina omutima ogukkiriza, akireete, kye kiweebwayo ekya Mukama: zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo; |
|
| 6 |
|
| ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi; |
|
| 7 |
|
| n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita; |
|
| 8 |
|
| n'amafuta g'ettaala, n'eby'akaloosa eby'amafuta ag'okufukako, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza; |
|
| 9 |
|
| n'amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omukifuba. |
|
| 10 |
|
| “Era buli muntu mu mmwe alina obusobozi, ajje akole byonna Mukama by'alagidde; |
|
| 11 |
|
| ennyumba, eweema yaayo n'eky'okugibikkako, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo; |
|
| 12 |
|
| essanduuko, n'emisituliro gyayo, entebe ey'okusaasira, n'eggigi eryawulamu; |
|
| 13 |
|
| emmeeza n'emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egy'okulaga; |
|
| 14 |
|
| era n'ekikondo eky'ettabaaza, n'ebintu byakyo, n'ettabaaza zaakyo, n'amafuta ag'ettabaaza; |
|
| 15 |
|
| n'ekyoto eky'okwoterezangako, n'emisituliro gyakyo, n'amafuta ag'okufukako, n'obubaane obuwoomerevu, n'akatimba ak'oluggi olw'omu mulyango ogw'eweema; |
|
| 16 |
|
| ekyoto eky'okwokerangako ekiweebwayo, era n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, emisituliro gyakyo, n'ebintu byakyo byonna, ekinaabirwamu n'entobo yaakyo; |
|
| 17 |
|
| ebitimbibwa eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byazo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya; |
|
| 18 |
|
| enninga ez'eweema, n'enninga ez'oluggya, n'emigwa gyabyo; |
|
| 19 |
|
| n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, eby'okuweererezangamu mu bwakabona.” |
|
| 20 |
|
| Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bava mu maaso ga Musa. |
|
| 21 |
|
| Ne bajja buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza, era na buli muntu omwoyo gwe gwe gwakkirizisa, ne baleeta ekiweebwayo ekya Mukama, olw'omulimu ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'olw'okuweereza kwayo kwonna, n'olw'ebyambalo ebitukuvu. |
|
| 22 |
|
| Ne bajja, abasajja era n'abakazi, bonna abaalina emitima egikkiriza, ne baleeta amapeesa, n'empeta ez'omu matu, n'eziriko obubonero, n'amagemo, amakula gonna aga zaabu; buli muntu eyawa ekiweebwayo ekya zaabu eri Mukama. |
|
| 23 |
|
| Na buli muntu eyalabika ng'alina kaniki n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi, n'ebyoya by'embuzi, n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'abireeta. |
|
| 24 |
|
| Buli muntu eyawaayo ekiweebwayo ekya ffeeza n'ekikomo yaleeta ekiweebwayo ekya Mukama; na buli muntu eyalabika ng'alina omuti gwa sita olw'omulimu gwonna gwonna ogw'okuweereza, n'aguleeta. |
|
| 25 |
|
| N'abakazi bonna abaalina obusobozi, ne balanga n'engalo zaabwe, ne baleeta bye baalanga, kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi. |
|
| 26 |
|
| N'abakazi bonna abaalina obusobozi okukola, ne balanga ebyoya by'embuzi. |
|
| 27 |
|
| N'abakulu ne baleeta amayinja aga onuku, n'ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omukifuba; |
|
| 28 |
|
| n'eby'akaloosa, n'amafuta; olw'ettabaaza, n'olw'amafuta ag'okufukako, n'olw'obubaane obuwoomerevu. |
|
| 29 |
|
| Abaana ba Isiraeri baaleeta ekiweebwayo eky'emyoyo egy'eddembe eri Mukama; buli musajja n'omukazi, nga bwe bakubirizibwa mu mitima gyabwe, okuleetera omulimu gwonna Mukama gwe yalagira okukola mu mukono gwa Musa. |
|
| 30 |
|
| Musa n'agamba abaana ba Isiraeri nti, “Laba, Mukama alonze Bezaaleeri omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'ekika kya Yuda; |
|
| 31 |
|
| era amujjuzizza omwoyo gwa Katonda, mu magezi, mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri y'okukola; |
|
| 32 |
|
| n'okuyiiya emirimu egy'amagezi, n'okukola omulimu gwa zaabu, n'ogwa ffeeza, n'ogw'ekikomo, |
|
| 33 |
|
| n'ogw'okusala amayinja ag'okutona, n'ogw'okwola emiti, okukola buli ngeri y'emirimu egy'amagezi. |
|
| 34 |
|
| Era aluŋŋamizza okuyigiriza, ye era ne Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani. |
|
| 35 |
|
| Abo abawadde obusobozi, okukola buli ngeri ya mirimu gyonna: egy'omusazi w'amayinja, n'egy'omudaliza, egya kaniki, n'egy'olugoye olw'effulungu, n'egy'olumyufu, n'egya bafuta ennungi, n'egy'omulusi. Basobola okukola emirimu gyonna egya buli ngeri, era n'okuyiiya eby'amagezi. |
|
|
|
|