×

Luganda Bible 2003

Okuva 38

1
N'akola alutaari ey'omuti ogwa akasiya, ey'okwokerangako ebiweebwayo. Yali yenkanankana ku njuyi zonna: mita bbiri n'ebitundu bibiri obuwanvu, ne mita bbiri n'ekitundu obugazi, ate mita emu n'ebitundu bisatu obugulumivu.
2
N'akola amayembe gaayo ku nsonda zaayo ennya, nga ga muti gwe gumu n'ogwayo, n'agibikkako ekikomo.
3
Era n'akola eby'okukozesanga ku alutaari: entamu, n'ebijiiko, n'ebibya, ne wuuma, n'ensaniya. Ebintu byayo byonna, n'abikola nga bya kikomo.
4
N'agikolera ekitindiro ekiruke eky'ekikomo, n'akiteeka wansi w'omugo gw'alutaari, ne kibeera wakati w'obugulumivu bwayo.
5
N'akola empeta nnya, n'aziteeka ku nsonda ennya ez'ekitindiro eky'ekikomo, okusiba emisituliro.
6
N'akola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, n'agibikkako ekikomo,
7
n'agiyingiza mu mpeta ku buli ludda olw'alutaari, okugisitulirangako. Alutaari yagikola nga ya mbaawo, era ng'erina ebbanga munda.
8
N'akola ebbenseni ey'ekikomo n'ekikondo kyayo eky'ekikomo, ng'akozesa endabirwamu ez'abakazi abaaweerezanga ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
9
N'akola oluggya lw'Eweema Entukuvu, n'alwetoolooza entimbe ez'olugoye olulukiddwa obulungi. Ku ludda olw'ebukiikaddyo, entimbe zaali za mita amakumi ana mu nnya obuwanvu,
10
nga ziwaniriddwa amalobo n'oluuma ebya ffeeza ku bikondo byazo amakumi abiri eby'ekikomo, ebisimbiddwa mu binnya byabyo amakumi abiri eby'ekikomo.
11
Entimbe zaali kye kimu ne ku ludda olw'ebukiikakkono, nga za mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, nga ziwaniriddwa amalobo n'oluuma ebya ffeeza, ku bikondo byazo amakumi abiri eby'ekikomo, ebisimbiddwa mu binnya byabyo amakumi abiri eby'ekikomo.
12
Ku ludda olw'ebugwanjuba, entimbe zaali za mita amakumi abiri mu bbiri obuwanvu, n'ebikondo kkumi n'ebinnya kkumi, n'amalobo n'oluuma ebya ffeeza.
13
Ku ludda olw'ebugwanjuba olwaliko omulyango, oluggya lwali lwa mita amakumi abiri mu bbiri obugazi.
14
Ku buli ludda olw'omulyango waaliyo entimbe za mita mukaaga n'ebitundu mukaaga, ebikondo bisatu, n'ebinnya bisatu.
15
16
Entimbe zonna okwetooloola oluggya zaali zirukiddwa mu lugoye olulungi.
17
Ebinnya by'ebikondo byali bya kikomo, ate amalobo n'oluuma n'emitwe gy'ebikondo bya ffeeza.
18
Olutimbe olw'omu mulyango lwali lwa lugoye olulungi olulukiddwa mu langi eya bbululu n'eya kakobe n'Emmyufu, nga lutungiddwako omudalizo, nga lwa mita mwenda obuwanvu ne mita bbiri obugulumivu okwenkanankana n'ez'entimbe ez'oluggya.
19
Lwali luwaniriddwa ku bikondo bina, ebiri mu binnya bina eby'ekikomo. Amalobo gaabyo n'emitwe gyabyo, n'oluuma lwabyo byali bya ffeeza.
20
Enkondo zonna ez'eweema n'entimbe okwetooloola oluggya, zaali za kikomo.
21
Luno lwe lukalala lw'ebintu ebikozesebwa mu Weema Entukuvu, eyaterekebwamu ebipande eby'amayinja, okwawandiikibwa ebiragiro ekkumi. Musa ye yalagira Abaleevi okukola olukalala olwo, nga balabirirwa Yitamaari, mutabani wa Arooni kabona.
22
Bezaleeli mutabani wa Wuuri, era muzzukulu wa Huri, ow'omu Kika kya Yuda, ye yakola byonna, Mukama bye yalagira Musa.
23
Era yayambibwako Oholiyaabu mutabani wa Ahisamaki, ow'omu Kika kya Daani, omusazi w'amayinja omutetenkanya, era amanyi okudaliza engoye ennungi, enjeru, n'eza bbululu, n'eza kakobe, n'Emmyufu.
24
Zaabu yenna eyaweebwayo olw'omulimu ogw'okukola Eweema Entukuvu, yaweza talanta amakumi abiri mu mwenda, ne sekeli lusanvu mu asatu, mu bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu.
25
Ate ffeeza eyava mu abo abaabalibwa mu kubalibwa kw'abantu, yaweza talanta kikumi, ne sekeli lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano, mu bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu.
26
Abo abeetaba mu kubalibwa kw'abantu, be bo abaali bawezezza emyaka egy'obukulu amakumi abiri n'okusingawo. Baali emitwalo nkaaga, mu enkumi ssatu, mu bitaano mu ataano. Buli omu yawangayo omuwendo ogwagerekebwa, ogwa beka emu, kye kitundu kya sekeli, mu bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu.
27
Talanta kikumi eza ffeeza, ze zaakozesebwa okukola ebinnya ekikumi ebya Weema Entukuvu n'eby'olutimbe, talanta emu buli kinnya.
28
Sekeli olukumi mu olusanvu mu ensanvu mu ettaano eza ffeeza eyasigalawo, Bezaleeli n'azikolamu obuziziko n'amalobo eby'oku bikondo, era n'azikozesa okubikka emitwe gy'ebikondo ebyo.
29
Ekikomo ekyaweebwayo eri Mukama kyaweza talanta lusanvu ne sekeli enkumi bbiri mu bina.
30
Ekyo kye yakozesa okukola ebinnya by'emyango egy'oluggi lw'Eweema Entukuvu, n'okukola alutaari ey'ekikomo, n'ekitindiro kyayo eky'ekikomo, n'ebintu byonna eby'oku alutaari,
31
n'ebinnya okwetooloola oluggya, n'ebinnya eby'emyango egy'omulyango gw'oluggya, n'enkondo zonna okwetooloola oluggya.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes