1
Yakola omwaliiro gw'ekitambiro ekyokye mu muti ogw'akasaana ng'enjuyi zaagwo zenkanankana: emikono etaano obuwanvu, emikono etaano obugazi; obusimba bwagwo emikono esatu.
2
Ku nsonda zaagwo ennya yakolerako amayembe, amayembe gaayo nga gali ddala kuli; n'agibikka n'ekikomo.
3
Yakola byonna ebikozesebwa ku mwaliiro: entamu, ebitiiyo, ebibya ebyeyambisibwa mu kumansira amazzi, entoozo, n'enzigyo. Ebikozesebwa byonna eby'oku mwaliiro yabikola mu kikomo.
4
Omwaliiro yagukolera ekitindiro nga kigombezeddwa mu kyuma eky'ekikomo, wansi w'emikiikiro gyagwo, mu makkati g'obugulumivu bwagwo.
5
Yaweesa empeta nnya, n'azinywereza ku nsonda ennya ez'ekitindiro ky'ekikomo omuyita emisituliro.
6
Yakola emisituliro mu muti ogw'akasaana n'agibikkako ekikomo.
7
Yagissa mu mpeta eziri mu mbiriizi z'omwaliiro okugusitula. N'akola omwaliiro gw'embaawo nga mwereere munda.
8
Yakola ekinaabirwamu eky'ekikomo, n'ekikondo kyakyo eky'ekikomo ng'abiggya mu ndabirwamu z'abakazi abaweereza ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
9
Yakola oluggya, ku ludda olw'emaserengeta. Entimbe z'oluggya zaali za lugoye olwa bafuta olulange emikono kikumi.
10
Ebikondo byalwo n'entobo zaabyo amakumi abiri byali bya kikomo; amalobo g'ebikondo n'emikiikiro bya ffeeza.
11
Ku luuyi olw'emambuka waaliyo entimbe nga za mikono kikumi obuwanvu, n'ebikondo byazo amakumi abiri n'entobo zaabyo amakumi abiri za kikomo, n'amalobo g'ebikondo n'emikiikiro nga bya ffeeza.
12
Ku luuyi olw'ebuvanjuba waaliyo entimbe za mikono etaano, ebikondo byabyo kkumi n'entobo zaabyo kkumi, amalobo g'ebikondo n'emikiikiro nga bya ffeeza.
13
Ku luuyi olw'ebuvanjuba, okwolekera enjuba gy'eva, waaliyo emikono ataano.
14
Ku luuyi olumu olw'omulyango waaliyo entimbe za mikono kkumi n'etaano n'ebikondo byazo bisatu n'entobo zaabyo ssatu.
15
Ku luuyi olulala olw'omulyango gw'oluggya waaliyo entimbe za mikono kkumi n'etaano n'ebikondo byazo bisatu n'entobo zaabyo ssatu.
16
Entimbe zonna ezibugiriza oluggya zaali nkole mu lugoye olwa bafuta olulange.
17
Entobo z'ebikondo zaali za kikomo, amalobo n'emikiikiro gy'ebikondo nga bya ffeeza, emitwe gyabyo nga mibikkeko ffeeza era n'emikiikiro gy'ebikondo eby'oluggya nga gibikkiddwa ffeeza.
18
Olutimbe olusiikiriza omulyango gw'oluggya lwali lulukiddwa mu wuzi eza bbululu, kakobe n'entwakaavu ne mu lugoye olwa bafuta olulange; omulimu gw'omudaliza.
19
Empagi zaalwo zaali nnya; entobo zaazo ennya zaali za kikomo. Amalobo gaazo nga ga ffeeza, emitwe gyazo nga mibikkeko ffeeza, emikiikiro gyazo nga gya ffeeza.
20
Enkondo z'Ekisulo zonna n'ez'oluggya olwetooloddewo, zaali za kikomo.
21
Eno ye mbalirira y'ebintu ebyakozesebwa ku Kisulo, kwe kugamba Ekisulo ky'Endagaano, embalirira Musa gye yalagira ekolebwe, Abaleevi gye baakola nga Yitamari mutabani wa Aroni kabona abalagirira.
22
Bezaleli mutabani wa Wuri, mutabani wa Kuru, ow'ekika kya Yuda, yakola byonna Omukama bye yalagira Musa bikolebwe,
23
ng'ayambibwako Oliyabu mutabani w'Akisamaki, ow'ekika kya Daani, omufundi, omulusi era omudaliza w'engoye mu wuzi eza bbululu, eza kakobe n'entwakaavu ne mu lugoye olwa bafuta olulange.
24
Obungi bwa zaabu eyakozesebwa ku mulimu gwonna ogw'Ekitukuvu, zaabu eyali aleeteddwa ng'ekitone eky'okuwuuba, yali wa talenta abiri mu mwenda ne sekeli lusanvu mu asatu, ng'obalidde ku sekeli ey'Ekitukuvu.
25
Ffeeza eyakuŋŋaanyizibwa oluvannyuma lw'okubala abantu yazitowa talenta kikumi ne sekeli lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano, ng'obalidde ku sekeli y'Ekitukuvu.
26
Buli muntu yawa beka emu, oba kitundu kya sekeli ng'obalidde ku sekeli y'omu Kitukuvu, okuva ku buli yenna aweza emyaka amakumi abiri n'okusingawo eyayingizibwa mu baabalibwa. Abaabalibwa baawera abasajja obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
27
Talenta kikumi eza ffeeza zaakola ku ntobo z'Ekitukuvu n'olutimbe; talenta kkumi zaagenda ku ntobo kikumi, kwe kugamba nti talenta emu ku buli ntobo.
28
Sekeli lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano ze yeeyamba okukola amalobo ku mpagi, n'okubikka entwe zaazo n'emikiikiro gyazo.
29
Ekikomo ekyaleetebwa ng'ekitone eky'okuwuuba kyaweza talenta nsanvu ne sekeli enkumi bbiri mu bina;
30
ekyo kye yakozesa okukola entobo z'omulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, Omwaliiro gw'ekikomo n'ekitindiro kyagwo eky'ekikomo na byonna ebigendera ku mwaliiro;
31
entobo z'oluggya olwetooloddewo, omulyango gw'oluggya, enkondo zonna ez'Ekisulo n'enkondo zonna ez'oluggya olwetooloddewo.
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.