n'omugga gulijula ebikere, ebiririnnya ne biyingira mu nnyumba yo ne mu kisenge kyo mw'osula, ne ku kitanda kyo, ne mu nnyumba z'abaddu bo, ne ku bantu bo, ne mu ntamu zo, ne mu bibbo eby'okugoyeramu:
Musa n'agamba Falaawo nti Olw'ekyo weenyumiriza ku nze: mu biro ki mwe mba nkusabira ggwe n'abaddu ba n'abantu bo ebikere bizikirizibwe ku ggwe ne ku nnyumba zo, bisigale mu mugga mwokka?
Ne bakola bwe batyo; Alooni n'agolola omukono gwe n'omuggo n’akuba enfuufu y’ensi, ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo; enfuufu yonna ey'ensi n'eba ensekere mu nsi yonna ey'e Misiri.
Mukama n'agamba Musa nti Golokoka ku nkya mu matuluutulu oyimirire mu maaso ga Falaawo; laba, afuluma okugenda ku mazzi; omugambe nti Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti Leka abantu bange, bampeereze.
Naye bw'otoobaleke, laba, ndikuleetera ebikuukuulu by'ensowera ggwe n'abaddu bo n'abantu bo ne mu nnyumba zo: n'ennyumba ez'Abamisiri zirijjula ebikuukuulu by'ensowera, era n'ebibanja mwe ziri.
Nange ndigyawulako ku lunaku luli ensi ey'e Goseni, abantu bange mwebasula, ebikuukuulu by'ensowera bireme okubeerayo; olyoke omanye nga nze Mukama ali wakati w'ensi.
Mukama n'akola bw'atyo; ebikuukuulu by'ensowera ne bijja ebizibu mu nnyumba ya Falaawo ne mu nnyumba z'abaddu be: ne mu nsi yonna ey'e Misiri ensi n'efa ebikuukuulu by'ensowera.
Musa n'ayogera nti Laba nva mu maaso go, ndimusaba Mukama ebikuukuulu by'ensowera biggibwewo eri Falaawo, eri abaddu be, n'eri abantu be, jjo: wabula kino kyokka, Falaawo aleme okweyongera nate okulimba obutaleka bantu, baweeyo saddaaka eri Mukama.