×

Luganda Bible

Engero 11

1
Eminzaani ey'obulimba ya muzizo eri Mukama: Naye ekipima ekituufu ky'asanyukira.
2
Amalala lwe gajja, lwe wajja n'ensonyi: Naye amagezi gaba n'abeetoowaza.
3
Obutayonoona obw'abagolokofu bulibaluŋŋamya: Naye obubambaavu bw'abo abasala enkwe bulibazikiriza.
4
Obugagga tebuliiko kye bugasa ku lunaku olw'obusungu: Naye obutuukirivu buwonya mu kufa.
5
Obutuukirivu bw'oyo eyatuukirira bunaaluŋŋamyanga ekkubo lye: Naye omubi aligwa olw'obubi bwe ye.
6
Obutuukirivu obw'abagolokofu bulibawonya: Abo abasala enkwe balikwasibwa n'ettima lyabwe bo.
7
Omuntu omubi bw'afanga, okusuubira kwe kuzikiriranga: N'essuubi ery'obutali butuukikirivu libula.
8
Omutuukirivu awonyezebwa mu nnaku, Omubi n'adda mu kifo kye.
9
Atamanyi Katonda azikiriza munne n'akamwa ke: Naye abatuukirivu baliwonyezebwa olw'okumanya.
10
Abatuukirivu bwe balaba ebirungi, ekibuga kisanyuka: Era ababi bwe babula, wabaawo okuleekaana.
11
Omukisa ogw'abagolokofu gwe gugulumiza ekibuga: Naye akamwa k'ababi ke kakisuula.
12
Anyooma munne abulwa amagezi: Naye omuntu alina okutegeera asirika.
13
Atambulatambula ng'alyolyoma abikkula ebyama: Naye oyo alina omwoyo omwesigwa akisa ekigambo.
14
Okuluŋŋamya okw'amagezi nga kubuze, abantu bagwa: Naye mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe.
15
Eyeeyimirira oyo gw'atamanyi alibalagalwa: Naye akyawa obuyima anaabanga wa nkalakkalira.
16
Omukazi ow'ekisa aguguba n'ekitiibwa: N'abasajja ab'amawaggali baguguba n'obugagga.
17
Asaasira akola bulungi emmeeme ye ye: Naye omukambwe ateganya omubiri gwe ye.
18
Omubi afuna empeera emulimbalimba: Naye oyo asiga obutuukirivu aba n'empeera ey'enkalakkalira.
19
Anywerera mu butuukirivu ye alituuka mu bulamu: N'oyo agoberera obubi yetta yekka.
20
Abo abalina omutima omukyamu ba muzizo eri Mukama: Naye abo abalina ekkubo eryatuukirira b'asanyukira.
21
Omukono newakubadde nga gwegatta n'omukono, omuntu omubi taliwona kubonerezebwa: Naye ezzadde ery'abatuukirivu liriwonyezebwa.
22
Ng'ekyobuyonjo ekya zaabu ekiri mu nnyindo y'embizzi, Bw'atyo bw'abeera omukazi omulungi atalina kuteesa.
23
Abatuukirivu kye beegomba birungi bisa: Naye ababi kye basuubira busungu.
24
Wabaawo asaasaanya ne yeeyongera nate okwala; Era wabaawo akodowala okusinga bwe kigwana, naye kireeta kwetaaga bwetaazi.
25
Emmeeme egabagaba eneegejjanga: N'oyo afukirira amazzi, naye alifukirirwa yennyini.
26
Amma eŋŋaano, abantu balimukolimira: Naye omukisa gunaabanga ku mutwe gw'oyo agitunda.
27
Anyiikira okunoonyanga ebirungi, anoonyanga n'okuganja: Naye akenneenya ettima, linaamujjiranga.
28
Eyeesiga obugagga bwe aligwa: Naye abatuukirivu banaayeranga ng'amalagala amabisi.
29
Ateganya ennyumba ye ye alisikira empewo: N'omusirisuru aliba muddu w'oyo alina omutima ogw'amagezi.
30
Ebibala by'omutuukirivu muti gwa bulamu: N'oyo alina amagezi afuna emmeeme z'abantu.
31
Laba, omutuukirivu aliweebwa empeera mu nsi: Omubi n'omwonoonyi tebalisinga nnyo?
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes