|
| 1 |
|
| Mukama akyawa okukozesa ebipimo ebitali bituufu; Naye asanyukira ekipimo ekituufu. |
|
| 2 |
|
| Okuba n'amalala, kuddirirwa kuswala; Naye okwetoowaza, ge magezi. |
|
| 3 |
|
| Obwesimbu bw'omuntu omugolokofu, bumuluŋŋamya; Naye obukumpanya, buzikiriza ab'enkwe. |
|
| 4 |
|
| Obugagga tebugasa, Katonda nga asunguwadde. Naye obutuukirivu buwonya mu kufa. |
|
| 5 |
|
| Obutuukirivu bw'oyo eyatuukirira bunaaluŋŋamyanga ekkubo lye: Naye omubi aligwa olw'obubi bwe ye. |
|
| 6 |
|
| Obutuukirivu obw'abagolokofu bulibawonya: Naye ab'enkwe, balisibibwa okwegomba kwabwe bo. |
|
| 7 |
|
| Omuntu omubi bw'afa, okusuubira kwe kuzikirira. N'essuubi ly'abatali batuukirivu, libula. |
|
| 8 |
|
| Omutuukirivu awonyezebwa ennaku ye, Ate n'eddira omubi. |
|
| 9 |
|
| Atatya Katonda ayogera, ebizikiriza munne. Naye abatuukirivu baliwonyezebwa olw'okumanya. |
|
| 10 |
|
| Abatuukirivu bwe bafuna ebirungi, ekibuga kisanyuka: Era ababi bwe bafa, wabaawo okuleekaana olw'essanyu. |
|
| 11 |
|
| Omukisa ogw'abagolokofu gwe gugulumiza ekibuga: Naye ebigambo by'ababi, bikireetera okuzikirira. |
|
| 12 |
|
| Anyooma munne talina kutegeera; Naye omuntu alina okutegeera asirika. |
|
| 13 |
|
| Abungeesa eŋŋambo abikkula ebyama: Naye omwesigwa, asirikira ekigambo. |
|
| 14 |
|
| Okuluŋŋamya okw'amagezi nga kubuze, abantu bagwa: Naye awali abawi b'amagezi abangi, we waba emirembe. |
|
| 15 |
|
| Eyeeyimirira oyo gw'atamanyi talirema kwejjusa, Naye akyawa okweyimirira, anaaba n'emirembe. |
|
| 16 |
|
| Omukazi ow'ekisa assibwamu ekitiibwa; N'abasajja abakakaalukanyi, bafuna obugagga. |
|
| 17 |
|
| Ow'ekisa akola bulungi emmeeme ye: Naye omukambwe yeerumya yekka. |
|
| 18 |
|
| Omubi afuna empeera emulimbalimba: Naye oyo asiga obutuukirivu aba n'empeera ey'enkalakkalira. |
|
| 19 |
|
| Anywerera mu butuukirivu ye alituuka mu bulamu: N'oyo agoberera obubi yetta yekka. |
|
| 20 |
|
| Abo abalina omutima omukyamu ba muzizo eri Mukama: Naye abo abalina ekkubo eryatuukirira basanyukira. |
|
| 21 |
|
| Awatali kubuusabuusa, ababi bakubonerezebwa; Naye abatuukirivu baliwonyezebwa. |
|
| 22 |
|
| Ng'eky'obuyonjo ekya zaabu ekiri mu nnyindo y'embizzi, Bw'atyo bw'abeera omukazi omulungi atalina mpisa. |
|
| 23 |
|
| Abatuukirivu beegomba birungi byereere; Naye ababi kye basuubira busungu. |
|
| 24 |
|
| Waliwo abasaasaanya, naye ate nga beeyongera kugaggawala; Era waliwo akodowala okusinga bwe kigwana, naye neeyongera kwavuwala. |
|
| 25 |
|
| Omuntu omugabi aligaggawala; N'oyo ayamba abalala, naye aliyambibwa. |
|
| 26 |
|
| Amma banne emmere, abantu balimukolimira; Naye oyo aguzaako abalala, bamusabira omukisa. |
|
| 27 |
|
| Anyiikira okunoonyanga ebirungi, anafuna okuganja; Naye oyo anoonya okukola ekibi, kyanafunanga. |
|
| 28 |
|
| Eyeesiga obugagga bwe aligwa: Naye abatuukirivu banaabanga ng'omuti ogutojjedde. |
|
| 29 |
|
| Atawanya ab'omu maka ge, alisikira bbanga; N'omusiru anaafugibwanga oyo ow'amagezi. |
|
| 30 |
|
| Ebibala by'omutuukirivu muti gwa bulamu: N'oyo alina amagezi afuna emmeeme z'abantu. |
|
| 31 |
|
| Omutuukirivu aliweebwa empeera mu nsi: N'omubi n'omwonoonyi nabo balifuna ekibasaanira! |
|
|
|
|