×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Engero 12

1
Ayagala okubuulirirwa ayagala okumanya: Naye oyo akyawa okunenyezebwa aliŋŋaanga ensolo.
2
Omuntu omulungi anaaweebwanga Mukama ekisa: Naye omuntu ow'enkwe alimusalira omusango okumusinga.
3
Omuntu taanywezebwenga lwa bubi: Naye omutuukirivu talisigukululwa.
4
Omukazi eyeegendereza aleetera bba ekitiibwa; Naye aswaza abanga kookolo mu magumba ga bba.
5
Ebirowoozo eby'abatuukirivu biba bituufu; Naye ababi bye bateesa bulimba.
6
Ebigambo eby'ababi bya butemu, Naye ebigambo by'abagolokofu biwonya abantu.
7
Ababi bameggebwa ne babula: Naye ennyumba ey'abatuukirivu eriyimirira.
8
Omuntu asiimibwa ng'amagezi ge bwe gali: Naye oyo ow'omutima omubi, anyoomebwa.
9
Omuntu omwetoowaze, eyekolera, Asinga oyo eyessaamu ekitiibwa naye nga talina ky'alya.
10
Omuntu omutuukirivu alabirira ensolo ze, Naye omubi tazisaasira, aba mukambwe.
11
Alima ettaka lye, aliba n'emmere nnyingi; Naye agoberera ebitaliimu talina kutegeera.
12
Omunaala gw'ababi, gumenyeka ne gugwa; Naye omusingi gw'abatuukirivu, gunywera.
13
Omuntu omubi, ebigambo bye bye bimukwata, Naye omutuukirivu awona emitawaana.
14
Omuntu alifuna empeera esaanira, Ebyo by'akola ne by'ayogera.
15
Ekkubo ery'omusirusiru ddungi mu maaso ge ye: Naye ow'amagezi awuliriza bye bamubuulirira.
16
Okweraliikirira kw'omusirusiru kumanyibwa mangu ago: Naye omuntu omutegeevu asirikira okuvumibwa.
17
Ayogera amazima, ayolesa obutuukirivu, Naye omujulirwa ow'obulimba ayolesa obukuusa.
18
Wabaawo ayogera ng'ayanguyiriza, ebigambo bye ne biba ng'ekitala okufumita. Naye ebigambo by'ab'amagezi, biwonya.
19
Ebigambo eby'amazima bibeerera emirembe gyonna: Naye eby'obulimba, bya kaseera buseera.
20
Obulimba buli mu mitima gy'abo abateesa okukola obubi: Naye abateesa emirembe baba n'essanyu.
21
Omutuukirivu talibaako kabi k'aliraba: Naye ababi balijjula ebizibu.
22
Mukama akyayira ddala aboogera eby'obulimba; Naye abo abakola eby'amazima basanyukira.
23
Omuntu omutegeevu akisa bya manyi; Naye omusiru, alangirira obutamanya bwe.
24
Okunyiikira okukola, kukufuula wa buyinza; Naye omugayaavu akozesebwa omulimu ogw'obuddu.
25
Ennaku y'oku mutima, ereeta okwennyamira; Naye ekigambo ekirungi kigusanyusa.
26
Omutuukirivu aluŋŋamya banne, Naye ekkubo ery'ababi libawabya.
27
Omuntu omugayaavu tasobola wadde kufumba ky'ayizze; Naye omunyiikivu, afuna eby'obugagga bingi.
28
Mu kkubo ery'obutuukirivu mwe muli obulamu; naye ekkubo ly'obubi lirimu okufa.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes