Luganda Bible
|
| 1 |
| Omwana ow'amagezi awulira okuyigiriza kwa kitaawe: Naye omunyoomi tawulira kunenyezebwa. |
| 2 |
| Omuntu anaalyanga ebirungi olw'ebibala eby'akamwa ke: Naye emmeeme ey'abasala enkwe eneeryanga kugirirwa kyejo. |
| 3 |
| Akuuma akamwa ke anyweza obulamu bwe: Naye ayasama ennyo akamwa ke aliba n'okuzikirira. |
| 4 |
| Emmeeme ey'omugayaavu yeegomba n'eteba na kintu: Naye emmeeme ey'abanyiikivu eneegejjanga. |
| 5 |
| Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba: Naye omuntu omubi mugwagwa, era akwatibwa ensonyi. |
| 6 |
| Obutuukirivu bukuuma oyo akwata ekkubo eggolokofu: Naye ekyejo kisuula oyo alina ebibi. |
| 7 |
| Wabaawo eyeegaggawaza, naye nga talina kintu: Wabaawo eyeeyavuwaza, naye ng'alina obugagga bungi. |
| 8 |
| Obugagga bwe bwe bununula obulamu bw'omuntu: Naye omwavu, tawulira kukanga kwonna. |
| 9 |
| Omusana ogw'abatuukirivu gusanyuka: Naye ettabaaza ey'ababi erizikizibwa. |
| 10 |
| Amalala galeeta okuwakana okwereere: Naye amagezi gaba n'abo abateesa obulungi. |
| 11 |
| Obugagga obufunibwa olw'ebigambo ebitaliimu bulikendeezebwa: Naye oyo akuaanya ng'akola emirimu aliba n'okwala. |
| 12 |
| Essuubi erirwawo lisinduukiriza emmeeme: Naye ekyegombebwa bwe kijja kiba muti gwa bulamu. |
| 13 |
| Buli anyooma ekigambo yeereetako okuzikirira: Naye oyo atya ekiragiro aliweebwa empeera. |
| 14 |
| Etteeka ery'omugezigezi nsulo ya bulamu, Okuva mu byambika eby'okufa. |
| 15 |
| Okutegeera okulungi kuleeta okuganja: Naye ekkubo ery'abasala enkwe bbi. |
| 16 |
| Buli muntu omutegeevu akola emirimu n'okumanya: Naye omusirusiru ayaliira obusirusiru. |
| 17 |
| Omubaka ow'ekyejo agwa mu bubi: Naye omutume omwesigwa kwe kulaama. |
| 18 |
| Obwavu n'ensonyi biriba by'oyo agaana okubuulirirwa: Naye assaayo omwoyo eri okuneenyezebwa alissibwamu ekitiibwa. |
| 19 |
| Ekyegombebwa bwe kituukirira kiwoomera emmeeme: Naye okuva mu bubi kwa muzizo eri abasirusiru. |
| 20 |
| Otambulanga n'abantu ab'amagezi, naawe oliba n'amagezi: Naye munnaabwe w'abasirusiru alibalagalwa. |
| 21 |
| Obubi bugoberera abalina ebibi: Naye abatuukirivu balisasulibwa ebirungi. |
| 22 |
| Omuntu omulungi alekera obusika abaana b'abaana be: N'obugagga bw'oyo alina ebibi buterekerwa omutuukirivu. |
| 23 |
| Mu nnimiro ez'abaavu mulimu emmere nnyingi: Naye wabaawo azikirizibwa olw'obutagoberera nsonga. |
| 24 |
| Atakwata muggo gwe akyawa omwana we: Naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali. |
| 25 |
| Omutuukirivu alya, emmeeme ye n’ekkuta: Naye olubuto lw'ababi lulirumwa enjala. |
|
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/proverbs/013.mp3
31
13