|
| 1 |
|
| Okuddamu n'eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi; Naye ekigambo eky'ekkayu kisaanuula obusungu. |
|
| 2 |
|
| Ab'amagezi boogera, ebisaana; Naye abasiru boogera bya busirusiru. |
|
| 3 |
|
| Amaaso ga Mukama gaba mu buli kifo, Nga galabirira ababi n'abalungi. |
|
| 4 |
|
| Okwogera eby'ekisa, kuleeta obulamu; Naye ebigambo eby'obukambwe, bikosa omutima. |
|
| 5 |
|
| Omusirusiru anyooma okubuulirira kwa kitaawe: Naye omutegeevu, akkiriza okunenyezebwa. |
|
| 6 |
|
| Mu nnyumba ey'omutuukirivu mubaamu obugagga bungi: Naye mu magoba ag'omubi mulimu okulaba ennaku. |
|
| 7 |
|
| Ab'amagezi bye boogera bibunyisa okumanya; Naye omutima gw'abasirusiru si bwe gukola. |
|
| 8 |
|
| Ssaddaaka ey'omubi ya muzizo eri Mukama: Naye okusaba kw'abagolokofu kw'asanyukira. |
|
| 9 |
|
| Ekkubo ery'omubi lya muzizo eri Mukama: Naye ayagala oyo agoberera obutuukirivu. |
|
| 10 |
|
| Ava mu kkubo ettuufu, wa kukangavvulwa nnyo. Era oyo akyawa okunenyezebwa alifa. |
|
| 11 |
|
| Amagombe n'okuzikirira biri mu maaso ga Mukama: Kale kiki ky'atamanyi mu mitima gy'abantu? |
|
| 12 |
|
| Omunyoomi tayagala kunenyezebwa: Era tayagala kwebuuza ku ba magezi. |
|
| 13 |
|
| Asanyuka mu mutima, ne ku maaso amwenya; Naye obuyinike obw'omutima bwennyamiza omuntu. |
|
| 14 |
|
| Omutima gw'oyo alina okutegeera gunoonya okumanya: Naye abasiru, basanyukira mu butamanya bwabwe. |
|
| 15 |
|
| Ennaku zonna ez'abo ababonyaabonyezebwa mbi: Naye oyo omusanyufu, aba ng'ali ku mbaga ey'olubeerera. |
|
| 16 |
|
| Akatono akaliko okutya Mukama Kasinga obugagga obungi obuliko obuyinike. |
|
| 17 |
|
| Amaluma awali okwagalana Gasinga okulya ebisava, awali okukyawagana. |
|
| 18 |
|
| Omuntu ow'obusungu asaanuula oluyombo: Naye alwawo okusunguwala akkakkanya empaka. |
|
| 19 |
|
| Ekkubo ery'omugayaavu liri ng'olukomera olw'amaggwa: Naye oluwenda olw'abagolokofu lufuuka oluguudo. |
|
| 20 |
|
| Omwana ow'amagezi asanyusa kitaawe: Naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina. |
|
| 21 |
|
| Obusirusiru buba ssanyu eri oyo atalina magezi: Naye omuntu alina okutegeera atambulira mu butuukirivu. |
|
| 22 |
|
| Awatali kuwabulwa, okuteesa kufa; Naye awali abawabuzi abangi, ebiteesebwa birama. |
|
| 23 |
|
| Okuddamu ekituufu, kusanyusa omuntu. N'ekigambo ekijjira mu ntuuko zaakyo nga kirungi! |
|
| 24 |
|
| Abantu ab'amagezi bakwata ekkubo eryambuka awali obulamu, Ne beewala eriserengeta mu kufa. |
|
| 25 |
|
| Mukama alisuula ennyumba ey'ab'amalala; Naye alinyweza ensalo ya nnamwandu. |
|
| 26 |
|
| Mukama tayagala birowoozo bya muntu mubi, Naye asanyukira ebigambo by'omulongoofu. |
|
| 27 |
|
| Ayaayaanira amagoba ag'obukumpanya, aleetera amaka ge emitawaana; Naye akyawa enguzi, y'aliba omuwangaazi. |
|
| 28 |
|
| Omuntu omutuukirivu, amala kulowooza nga tanaba kwanukula; Naye omubi ayogera ebitasaana. |
|
| 29 |
|
| Mukama aba wala ababi: Naye awulira okusaba kw'abatuukirivu. |
|
| 30 |
|
| Okutunuza essanyu, kisanyusa omutima; N'ebigambo ebirungi bireetera omuntu okweyagala. |
|
| 31 |
|
| Okutu okuwulira okunenya okw'obulamu Kunaabeeranga mu b'amagezi. |
|
| 32 |
|
| Agaana okubuulirirwa yeefiiriza yekka. Naye oyo akkiriza okunenyezebwa, afuna okutegeera. |
|
| 33 |
|
| Okutya Mukama, kuyigiriza omuntu amagezi; Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa. |
|
|
|
|