|
| 1 |
|
| Omuntu ateekateeka by'anaakola; Naye Mukama y'asalawo eky'enkomerero. |
|
| 2 |
|
| Amakubo gonna ag'omuntu gaba malongoofu mu maaso ge ye: Naye Mukama apima emyoyo. |
|
| 3 |
|
| Emirimu gyo gikwasenga Mukama, By'otegese lwe binaatuukirizibwanga. |
|
| 4 |
|
| Mukama yakolera buli kintu omulimu gwakyo: Weewaawo, era n'ababi yabakolera olunaku olw'okulabirako ennaku. |
|
| 5 |
|
| Buli muntu alina omutima ogw'amalala wa muzizo eri Mukama: Taliwona nakatono kubonerezebwa. |
|
| 6 |
|
| Okusaasira n'amazima bye birongoosa obutali butuukirivu: Era okutya Mukama kwe kuggya abantu mu bubi. |
|
| 7 |
|
| Amakubo ag'omuntu bwe gasanyusa Mukama, Amukyusiza abalabe, okuba mikwano gye. |
|
| 8 |
|
| Okufuna akatono mu mazima, Kisinga okufuna ebingi, mu bukumpanya. |
|
| 9 |
|
| Omuntu y'ateekateeka by'anaakola; Naye Mukama yabiruŋŋamya okutuukirira. |
|
| 10 |
|
| Kabaka aluŋŋamizibwa mu by'ayogera; Natasobya bwaba nga alamula omusango. |
|
| 11 |
|
| Ebigera n'eminzaani ebituufu Mukama by'ayagala; Ebipimibwa byonna bibeere mu mazima. |
|
| 12 |
|
| Kibi bakabaka okukola ebibi; Kubanga obutuukirivu bwe bunyweza okufuga kwe. |
|
| 13 |
|
| Emimwa emituukirivu bakabaka gye basanyukira; Era baagala oyo ayogera eby'amazima. |
|
| 14 |
|
| Kabaka bw'asunguwala ayinza okutta; Naye omuntu ow'amagezi amuwooyawooya mangu. |
|
| 15 |
|
| Okusanyuka kwa kabaka mwe muli obulamu; N'okuganza kwe kulinga enkuba ya ttoggo. |
|
| 16 |
|
| Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu! Weewaawo, okufuna okutegeera kulondebwa okukira ffeeza. |
|
| 17 |
|
| Abantu abagolokofu beewala okukola obubi; N'oyo eyeegendereza mu mpisa ze awonya emmeeme ye. |
|
| 18 |
|
| Amalala gakulembera okuzikirira, N'omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo. |
|
| 19 |
|
| Aba n'omwoyo ogwetoowaza wamu n'abaavu Akira agabana omunyago wamu n'ab'amalala. |
|
| 20 |
|
| Assaayo omwoyo eri ekigambo anaalabanga ebirungi: Era buli eyeesiga Mukama alina omukisa. |
|
| 21 |
|
| Omuntu ow'amagezi, gwe bayita omutegeevu; Ow'ebigambo ebinyunyuntuvu, ayanguwa okusikiriza abantu. |
|
| 22 |
|
| Eri omutegeevu, amagezi bwe bulamu; Naye okubuulirira omusiru, kumala biseera. |
|
| 23 |
|
| Ow'amagezi ayogera bizimba, Ebisikiriza abantu. |
|
| 24 |
|
| Ebigambo ebisanyusa biringa mubisi gwa njuki okuwooma; Bizzaamu amaanyi, era bireeta obulamu. |
|
| 25 |
|
| Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, Naye ku nkomerero limutwala mu kufa. |
|
| 26 |
|
| Obwetaavu buleetera omuntu okukola; Alyoke afune ky'anaalya. |
|
| 27 |
|
| Omuntu ataliiko ky'agasa agunja obubi; Era by'ayogera bibalagala nga ayokeddwa omuliro. |
|
| 28 |
|
| Omuntu omubambaavu aleeta ennyombo; N'omulyolyomi akyayisa ab'omukwano ennyo. |
|
| 29 |
|
| Omuntu ow'effujo asendasenda munne, N'amutwala mu kkubo eritali ddungi. |
|
| 30 |
|
| Atta ku liiso, ateesa bya bulimba; Aluma emimwa atuukiriza obubi. |
|
| 31 |
|
| Envi ez'obukadde, ngule ya kitiibwa, efunibwa oyo akola eby'obutuukirivu. |
|
| 32 |
|
| Alwawo okusunguwala asinga omuzira nnamige; Eyeefuga mu mutima, asinga awangula ekibuga. |
|
| 33 |
|
| Akalulu kasuulibwa okulaba ekivaamu; Naye Mukama yasalawo ekivaamu. |
|
|
|
|