|
| 1 |
|
| Omwavu atambulira mu butayonoona bwe Akira omulimba era omusiru. |
|
| 2 |
|
| Si kirungi obutamala kulowooza; N'oyo ayanguwa ennyo ng'atambula abula. |
|
| 3 |
|
| Obusirusiru bw'omuntu bwe bumuleetera emitawaana; Ate anyiigira Mukama. |
|
| 4 |
|
| Obugagga buleetera omuntu emikwano mingi; Naye omwavu ne gy'alina gimwabulira. |
|
| 5 |
|
| Omujulirwa ow'obulimba talirema kubonerezebwa; N'omulimba talibaako wawonera. |
|
| 6 |
|
| Bangi abagala okuganza omugabi, Era buli muntu aba mukwano gw'oyo awa ebirabo. |
|
| 7 |
|
| Omwavu baganda be bonna bamukyawa: Mikwano gye tebasinga nnyo kumwewala! Akanda kubakoowoola, naye bo nga tebadda. |
|
| 8 |
|
| Afuna amagezi yeeyagaliza ekirungi, Anyweza okutegeera aliraba ebirungi |
|
| 9 |
|
| Omujulirwa ow'obulimba talirema kubonerezebwa; N'oyo alimba alizikirira. |
|
| 10 |
|
| Okwejalabya tekusaanira musiru; Era n'omuddu tasaanidde kufuga balangira. |
|
| 11 |
|
| Okufumiitiriza okw'amagezi, kulwisaawo omuntu okusunguwala; Era okusonyiwa ekisobye kye kitiibwa kye. |
|
| 12 |
|
| Obusungu bwa kabaka buli ng'okuwuluguma kw'empologoma; Naye okwagala kwe kuli ng'omusulo ogunnyikiza omuddo. |
|
| 13 |
|
| Omwana omusirusiru nnaku za kitaawe: N'okuyomba kw'omukazi ye nkuba etonnya olutata. |
|
| 14 |
|
| Ennyumba n'obugagga bwe busika obuva eri bakitaabwe: Naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama. |
|
| 15 |
|
| Omugayaavu yeebaka otulo tungi; N'omuntu atakola mulimu alirumwa enjala. |
|
| 16 |
|
| Akuuma ekiragiro aliba n'emirembe, Naye atabissaako mwoyo alifa. |
|
| 17 |
|
| Awa omwavu awola Mukama, Era Mukama alimusasula olw'ekikolwa kye ekirungi. |
|
| 18 |
|
| Kangavvulanga omwana wo, nga wakyaliwo essuubi; So tomuleka kuzikirira. |
|
| 19 |
|
| Omuntu ow'ekiruyi ekingi aliriwa: Kubanga bw'olimuwonya kirikugwanira okukola bw'otyo nate omulundi ogwokubiri. |
|
| 20 |
|
| Sangayo omwoyo eri okubuulirirwa, okkirizenga okuyigirizibwa, Olwo lw'olibeera n'amagezi gye bujja. |
|
| 21 |
|
| Omuntu ateekateeka bingi mu mutima gwe okukola; Naye Mukama by'ayagala, bye bituukirira. |
|
| 22 |
|
| Omuntu ekimwagaza kisa kye: N'omwavu akira omulimba. |
|
| 23 |
|
| Okutya Mukama kuleeta bulamu: N'oyo ali nakwo anaabeereranga awo nga kumumala; Talijjirwa bubi. |
|
| 24 |
|
| Omugayaavu akoza emmere mu nva, N'alemwa okugissa mu kamwa. |
|
| 25 |
|
| Bonereza omunyoomi, atalina magezi ayige. Era buulirira alina okutegeera, Naye aneeyongera okutegeera. |
|
| 26 |
|
| Anyaga kitaawe n'agoba nnyina, Ye mwana akwasa ensonyi era aleeta ekivume. |
|
| 27 |
|
| Mwana wange, lekanga okuwulira okuyigirizibwa, Okuleeta okukyama obukyami n'ova mu kumanya. |
|
| 28 |
|
| Omujulirwa ow'obulimba anyooma obwenkanya, N'abantu ababi, bawoomerwa okukola ebibi. |
|
| 29 |
|
| Abanyoomi tebaliremwa kusingibwa musango; N'abasiru tebaliremwa kubonerezebwa. |
|
|
|
|