|
| 1 |
|
| Mwana wange, bw'onokkirizanga ebigambo byange, N'oterekanga ebiragiro byange ewuwo; |
|
| 2 |
|
| N'okutega n'oteganga okutu kwo eri amagezi N'ossangayo omutima gwo eri okutegeera; |
|
| 3 |
|
| Weewaawo, bw'onookaabiranga okumanya, N'oliriranga okutegeera. |
|
| 4 |
|
| Bw'onooganoonyanga nga ffeeza, N'ogakenneenyanga ng'eby'obugagga ebyakwekebwa; |
|
| 5 |
|
| Kale lw'olitegeera okutya Mukama, N'ovumbula okumanya Katonda. |
|
| 6 |
|
| Kubanga Mukama awa amagezi; Mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n'okutegeera: |
|
| 7 |
|
| Aterekera abagolokofu amagezi amatuufu, Aba ngabo eri abo abatambulira mu butayonoona; |
|
| 8 |
|
| Alyoke akuume amakubo ag'omusango, Era awonye okutambula kw'abatukuvu be. |
|
| 9 |
|
| Kale lw'olitegeera obutuukirivu n'omusango, N'eby'ensonga, weewaawo buli kkubo eddungi. |
|
| 10 |
|
| Kubanga amagezi ganaayingiranga mu mutima gwo, N'okumanya kunaawoomeranga emmeeme yo; |
|
| 11 |
|
| Okuteesa kunaakulabiriranga. Okutegeera kunaakukuumanga: |
|
| 12 |
|
| Okukuwonyanga mu kkubo ery'obubi, Eri abasajja aboogera eby'ekyejo; |
|
| 13 |
|
| Abaleka amakubo ag'obugolokofu, Okutambuliranga mu makubo ag'ekizikiza; |
|
| 14 |
|
| Abasanyuka okukola obubi, N'ekyejo eky'omubi kye kibawoomera; |
|
| 15 |
|
| Amakubo gaabwe makyamukyamu, N'okugenda kwabwe kwenyoolanyoola: |
|
| 16 |
|
| Okukuwonyanga eri omukazi omugenyi, Eri omugenyi anyumiriza n'ebigambo bye; |
|
| 17 |
|
| Aleka omukwano ogw'omu buto bwe, Ne yeerabira endagaano ya Katonda we: |
|
| 18 |
|
| Kubanga ennyumba ye etwala mu kufa, N'amakubo ge eri abafu: |
|
| 19 |
|
| Tewali abagenda gy'ali abadda nate, So tebatuuka mu makubo ag'obulamu: |
|
| 20 |
|
| Olyoke otambulirenga mu kkubo ery'abasajja abalungi, N'okwata empenda ez'abatuukirivu. |
|
| 21 |
|
| Kubanga abagolokofu banaabeeranga mu nsi, N'abo abatuukirira balisigala omwo. |
|
| 22 |
|
| Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, N'abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala. |
|
|
|
|