|
| 1 |
|
| Mwana wange, singa ossa omwoyo ku bye nkuyigiriza, n'oteerabiranga bye nkulagira okukola; |
|
| 2 |
|
| n'owuliranga ebigambo eby'amagezi, era n'ofubanga okubitegeera; |
|
| 3 |
|
| n'osabanga ofune amagezi, ne weegayiriranga oweebwe okutegeera; |
|
| 4 |
|
| amagezi n'oganoonyanga ng'anoonya ffeeza, era ng'awenja ebyobugagga ebyakwekebwa, |
|
| 5 |
|
| olwo olitegeera okutya Mukama, n'ovumbula okumanya Katonda, |
|
| 6 |
|
| kubanga Mukama ye agaba amagezi, ye atuwa okumanya n'okutegeera. |
|
| 7 |
|
| Amagezi amatuufu agaterekera abalongoofu, n'akuuma abeewala okwonoona, |
|
| 8 |
|
| alyoke akuume obwenkanya, alabirire abo abakola by'ayagala. |
|
| 9 |
|
| Bw'ossa omwoyo ku bye nkutegeeza, olimanya ebituufu n'eby'amazima, n'eby'obwenkanya. Olimanya by'osaanidde okukola. |
|
| 10 |
|
| Olifuuka mugezi, okumanya ne kukusanyusa. |
|
| 11 |
|
| Okuteesa obulungi kunaakulabiriranga, n'okutegeera kukukuumenga, |
|
| 12 |
|
| kukuwonyenga okukola ebitasaana, era kukuwonyenga abo aboogera ebitabula abantu. |
|
| 13 |
|
| Kubakuwonyenga abo abavudde ku kukolanga ebituufu, ne badda mu kukolanga ebibi, |
|
| 14 |
|
| abasanyuka okwonoona, era abaaniriza ebikolwa by'abantu aboonoonefu. |
|
| 15 |
|
| Bo bantu abakyukakyuka, era abatayinza kwesigika. |
|
| 16 |
|
| Olisobola okuwona omukazi ow'empisa embi, agezaako okukusendasenda n'akalimi akawoomerevu. |
|
| 17 |
|
| Omukazi ow'engeri eyo, aleka bba gwe yafumbirwa mu buvubuka, ne yeerabira Katonda bye yalagira. |
|
| 18 |
|
| Kale okugenda ku nnyumba ye, kuba kugenda magombe. Ekkubo erigenda ewuwe, likutwala mu bafu. |
|
| 19 |
|
| Abamukyalira tebadda, tebakomawo mu kkubo ery'obulamu. |
|
| 20 |
|
| Kale goberera ekyokulabirako eky'abantu abalungi, okwatenga empisa z'abakola ebituufu, |
|
| 21 |
|
| kubanga ab'omwoyo omulongoofu be banakkaliranga mu nsi; abataliiko kamogo, be baligisigalamu. |
|
| 22 |
|
| Naye Katonda alimalawo ababi mu nsi, n'aboonoonyi balisimbulibwamu. |
|
|
|
|