|
| 1 |
|
| Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange, n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo, |
|
| 2 |
|
| era n’ossaayo omwoyo eri amagezi, era n’ossa omutima gwo eri okutegeera, |
|
| 3 |
|
| ddala ddala singa oyaayaanira okumanya era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera, |
|
| 4 |
|
| bw’onooganoonyanga nga ffeeza, era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa, |
|
| 5 |
|
| awo w’olitegeerera okutya Mukama, era n’ovumbula okumanya Katonda. |
|
| 6 |
|
| Kubanga Mukama awa amagezi; era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera. |
|
| 7 |
|
| Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi, era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu. |
|
| 8 |
|
| Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya, era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be. |
|
| 9 |
|
| Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya; weewaawo buli kkubo eddungi. |
|
| 10 |
|
| Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo, n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo. |
|
| 11 |
|
| Okwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga n’okutegeera kunaakukuumanga: |
|
| 12 |
|
| Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi, n’abantu aboogera eby’obugwagwa, |
|
| 13 |
|
| abaleka amakubo ag’obutuukirivu ne batambulira mu makubo ag’ekizikiza, |
|
| 14 |
|
| abasanyukira okukola ebikolwa ebibi, abanyumirwa eby’obusirusiru, |
|
| 15 |
|
| abantu abo be b’amakubo amakyamu, era abakujjukujju mu ngeri zaabwe. |
|
| 16 |
|
| Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi, n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda, |
|
| 17 |
|
| eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we. |
|
| 18 |
|
| Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa, n’amakubo ge galaga eri abafu. |
|
| 19 |
|
| Tewali n’omu agenda ewuwe adda wadde okufunirayo amakubo g’obulamu. |
|
| 20 |
|
| Kale tambuliranga mu kkubo ly’abo abatya Katonda era onywerere mu makubo g’abatuukirivu. |
|
| 21 |
|
| Kubanga abatuukirivu balituula mu nsi, era abo abagolokofu baligisigalamu. |
|
| 22 |
|
| Naye abakozi b’ebibi balifiirwa ebirungi eby’ensi, n’abatali beesigwa balizikirizibwa. |
|
|
|
|