|
| 1 |
|
| Mwana wange, bw'onokkirizanga ebigambo byange, N'ewekuumanga ebiragiro byange, |
|
| 2 |
|
| N'okutega n'oteganga okutu kwo eri amagezi N'ossaayo omutima gwo okutegeera; |
|
| 3 |
|
| Bw'onookabiranga okufuna okumanya, Era nooyaayaaniranga okufuna okutegeera, |
|
| 4 |
|
| N'onoonya amagezi nga ffeeza, N'ogawenja ng'eby'obugagga ebyakwekebwa, |
|
| 5 |
|
| Olwo lw'olitegeera okutya Mukama, N'ovumbula okumanya Katonda. |
|
| 6 |
|
| Kubanga Mukama y'agaba amagezi, Ebigambo bye, bye bituwa okumanya n'okutegeera. |
|
| 7 |
|
| Aterekera abagolokofu amagezi amatuufu, Aba ngabo eri abo abatambulira mu butayonoona; |
|
| 8 |
|
| Alyoke akuume obwenkanya, Era alabirire okutambula kw'abatukuvu be. |
|
| 9 |
|
| Kale bw'olissa omwoyo ku bye nkugamba, lw'olitegeera obutuukirivu n'obwenkanya, N'ebituufu, na buli kkubo eddungi. |
|
| 10 |
|
| Kubanga amagezi ganaayingiranga mu mutima gwo, N'okumanya kunaawoomeranga emmeeme yo. |
|
| 11 |
|
| Okuteesa kunaakulabiriranga. Okutegeera kunaakukuumanga. |
|
| 12 |
|
| Okukuwonyanga mu kkubo ebbi, Eri abantu aboogera ebikyamya. |
|
| 13 |
|
| Abaleka amakubo ag'obugolokofu, Okutambuliranga mu makubo ag'ekizikiza. |
|
| 14 |
|
| Abasanyuka okukola obubi, Era abawoomerwa ebibi. |
|
| 15 |
|
| Amakubo gaabwe makyamukyamu, N'engeri zaabwe za kwonoona. |
|
| 16 |
|
| Oliwonyezebwa eri omukazi ow'empisa embi, Agezaako okukusendasenda ne bigambo bye ebiwoomerevu. |
|
| 17 |
|
| Aleka bba gweyafumbirwa mu buvubuka, Ne yeerabira endagaano ya Katonda we. |
|
| 18 |
|
| Kale okugenda mu nnyumba ye, kuba kugenda mu kufa, Ekkubo erigenda ewuwe, likutwala magombe. |
|
| 19 |
|
| Abagenda gyali tebadda, Tebakomawo mu kkubo ery'obulamu. |
|
| 20 |
|
| Gobereranga ekkubo ery'abasajja abalungi, Otambulirenga mu kkubo ery'abatuukirivu. |
|
| 21 |
|
| Kubanga abagolokofu banaabeeranga mu nsi, N'abo abatuukirira balisigala omwo. |
|
| 22 |
|
| Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, N'abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala. |
|
|
|
|